Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 14:1-7

EBIRIMU

  • Endowooza y’omusirusiru

    • “Yakuwa taliiyo” (1)

    • “Tewali akola birungi” (3)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 14  Omusirusiru* agamba mu mutima gwe nti: “Yakuwa taliiyo.”+ Beeyisa bubi era bye bakola bya muzizo. Tewali n’omu akola birungi.+   Naye Yakuwa ayima mu ggulu n’atunuulira abaana b’abantuOkulaba obanga waliwo ategeera, okulaba obanga waliwo anoonya Yakuwa.+   Bonna bawabye,+Bonna boonoonefu. Tewali akola birungi. Tewali n’omu bw’ati.   Tewali n’omu ku boonoonyi ategeera? Balya abantu bange ng’abalya emmere. Tebakoowoola Yakuwa.   Balifuna entiisa ey’amaanyi,+Kubanga Yakuwa ali n’omulembe gw’abatuukirivu.   Mmwe aboonoonyi mugezaako okulemesa enteekateeka z’omunaku,Naye Yakuwa kye kiddukiro kye.+   Singa nno Isirayiri afuna obulokozi okuva mu Sayuuni!+ Yakuwa ng’akomezzaawo abantu be abaawambibwa,Yakobo k’asanyuke, Isirayiri k’ajaguze.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Atalina magezi.”