Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 135:1-21

EBIRIMU

  • Mutendereze Ya olw’obukulu bwe

    • Obubonero n’ebyamagero ebyakolebwa mu Misiri (8, 9)

    • “Erinnya lyo libeerawo emirembe n’emirembe” (13)

    • Ebifaananyi tebirina bulamu (15-18)

135  Mutendereze Ya!* Mutendereze erinnya lya Yakuwa;Mumutendereze mmwe abaweereza ba Yakuwa,+   Mmwe abayimiridde mu nnyumba ya Yakuwa,Mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.+   Mutendereze Ya, kubanga Yakuwa mulungi.+ Muyimbe ennyimba ezitendereza erinnya lye, kubanga kirungi.   Ya yeerondera Yakobo,Yeerondera Isirayiri okuba ekintu kye ekiganzi.*+   Nkimanyi bulungi nti Yakuwa mukulu;Mukama waffe mukulu okusinga bakatonda abalala bonna.+   Yakuwa akola buli kintu ky’ayagala+Mu ggulu ne ku nsi, mu nnyanja ne mu buziba bwonna.   Aleetera ebire okwambuka nga biva ku nkomerero y’ensi;Akolera enkuba ebimyanso;*Aggya empewo mu materekero ge,+   Yatta ababereberye b’e Misiri,Abantu n’ensolo.+   Yakola obubonero n’ebyamagero mu ggwe, Misiri,+Ku Falaawo ne ku baweereza be bonna.+ 10  Yazikiriza amawanga mangi+N’atta bakabaka ab’amaanyi+ 11  —Sikoni kabaka w’Abaamoli,+Ogi kabaka wa Basani,+N’asaanyaawo obwakabaka bwonna obw’omu Kanani. 12  Ensi yaabwe yagiwa abantu be okuba obusika,Obusika bwa Isirayiri abantu be.+ 13  Ai Yakuwa, erinnya lyo libeerawo emirembe n’emirembe. Ai Yakuwa, ettutumu lyo* libeerawo mu mirembe gyonna.+ 14  Yakuwa ajja kulwanirira abantu be,+Era ajja kusaasira abaweereza be.+ 15  Ebifaananyi by’amawanga bya ffeeza ne zzaabu,Byakolebwa na mikono gya bantu.+ 16  Birina emimwa naye tebyogera;+Birina amaaso naye tebiraba; 17  Birina amatu naye tebiwulira. Mu kamwa kaabyo temuli mukka.+ 18  Abantu ababikola balifuuka nga byo,+Awamu n’abo bonna ababyesiga.+ 19  Mmwe ennyumba ya Isirayiri, mutendereze Yakuwa. Mmwe ennyumba ya Alooni, mutendereze Yakuwa. 20  Mmwe ennyumba ya Leevi, mutendereze Yakuwa.+ Mmwe abatya Yakuwa, mutendereze Yakuwa. 21  Yakuwa atenderezebwe mu Sayuuni,+Oyo abeera mu Yerusaalemi.+ Mutendereze Ya!+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “ekintu kye eky’omuwendo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “aw’okuyita.”
Oba, “erinnya lyo.” Obut., “ekijjukizo kyo.”