Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 13:1-6

EBIRIMU

  • Okulindirira obulokozi bwa Yakuwa

    • “Ai Yakuwa, olituusa wa?” (1, 2)

    • Yakuwa akolera abantu ebirungi bingi (6)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 13  Ai Yakuwa, olituusa wa okunneerabira? Mirembe gyonna? Olituusa wa okunneekweka?+   Ndituusa wa okweraliikirira,N’okuba n’ennaku mu mutima gwange buli lunaku? Omulabe wange alituusa wa okunkajjalako?+   Ntunuulira onziremu, Ai Yakuwa Katonda wange. Amaaso gange gawe ekitangaala nneme okufa,*   Omulabe wange aleme kugamba nti: “Mmuwangudde!” Tokkiriza balabe bange kusanyuka nga ngudde.+   Nneesiga okwagala kwo okutajjulukuka;+Omutima gwange gujja kusanyukira ebikolwa byo eby’obulokozi.+   Nja kuyimbira Yakuwa olw’okuba ankoledde ebirungi bingi.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “kwebaka mu kufa.”