Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 128:1-6

EBIRIMU

  • Essanyu eriri mu kutya Yakuwa

    • Omukazi alinga omuzabbibu ogubala (3)

    • “K’olabe Yerusaalemi nga kikulaakulana” (5)

Oluyimba olw’Okwambuka. 128  Alina essanyu buli atya Yakuwa,+Buli atambulira mu makubo ge.+   Onoolyanga ebyo emikono gyo bye giteganira okufuna. Onoobanga musanyufu era onoobanga bulungi.+   Mukazi wo anaaba ng’omuzabbibu ogubala mu nnyumba yo;+Abaana bo banaaba ng’endokwa z’omuzeyituuni nga beetoolodde emmeeza yo.   Laba! Bw’atyo omuntu atya YakuwaBw’anaaweebwa omukisa.+   Yakuwa anaakuwa omukisa ng’asinziira mu Sayuuni. Ennaku zo zonna k’olabe Yerusaalemi nga kikulaakulana,+   Era olabe n’abaana b’abaana bo. Emirembe ka gibe ku Isirayiri.

Obugambo Obuli Wansi