Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Zabbuli 124:1-8

EBIRIMU

  • “Singa Yakuwa teyali naffe”

    • Okudduka mu mutego ogwamenyeka (7)

    • “Obuyambi bwaffe buli mu linnya lya Yakuwa” (8)

Oluyimba olw’Okwambuka. Zabbuli ya Dawudi. 124  “Singa Yakuwa teyali naffe”+ —Isirayiri k’egambe nti—   “Singa Yakuwa teyali naffe+Abantu bwe baasituka okutulumba,+   Banditumize nga tukyali balamu+Obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukira.+   Amazzi ganditukuluggusizza,Mukoka yanditututte.+   Amazzi agayira ganditubuutikidde.   Yakuwa atenderezebweKubanga tatuwaddeeyo kuliibwa balabe baffe.   Tulinga ekinyonyi ekyapulukaMu mutego gw’omuyizzi;+Omutego gwamenyekaNe tudduka.+   Obuyambi bwaffe buli mu linnya lya Yakuwa,+Eyakola eggulu n’ensi.”

Obugambo Obuli Wansi