Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 118:1-29

EBIRIMU

  • Okwebaza olw’obuwanguzi bwa Yakuwa

    • ‘Nnakoowoola Ya, n’annyanukula’ (5)

    • “Yakuwa ali ku ludda lwange” (6, 7)

    • Ejjinja eryagaanibwa lifuuse ejjinga ekkulu ery’oku nsonda (22)

    • “Oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa” (26)

118  Mwebaze Yakuwa, kubanga mulungi;+Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.   Isirayiri kaakano k’egambe nti: “Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”   Ab’ennyumba ya Alooni kaakano ka bagambe nti: “Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”   Abo abatya Yakuwa kaakano ka bagambe nti: “Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”   Bwe nnali mu nnaku nnakoowoola Ya;*Ya n’annyanukula n’antwala mu kifo omutali kabi.*+   Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga.+ Omuntu ayinza kunkola ki?+   Yakuwa ali ku ludda lwange era annyamba;*+Abo abatanjagala nja kubatunuulira n’amaaso agooleka obuwanguzi.+   Kirungi okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffeOkusinga okwesiga abantu.+   Kirungi okufuula Yakuwa ekiddukiro kyaffeOkusinga okwesiga abafuzi.+ 10  Amawanga gonna ganneetooloola,Naye mu linnya lya YakuwaNnagasindika eri.+ 11  Ganneetooloola, weewaawo ganneetooloolera ddala. Naye mu linnya lya Yakuwa,Nnagasindika eri. 12  Ganneetooloola ng’enjuki,Naye gaazikizibwa mangu ng’omuliro ogukoleezeddwa mu maggwa. Mu linnya lya Yakuwa,Nnagasindika eri.+ 13  Bansindika* n’amaanyi ngwe wansi,Naye Yakuwa n’annyamba. 14  Ya kye kiddukiro kyange era ge maanyi gange,Era afuuse obulokozi bwange.+ 15  Eddoboozi ly’okusanyuka n’ery’obulokozi*Liri mu weema z’abatuukirivu. Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwoleka amaanyi gaagwo.+ 16  Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwegulumiza;Omukono gwa Yakuwa ogwa ddyo gwoleka amaanyi gaagwo.+ 17  Sijja kufa, nja kusigala nga ndi mulamu,Nsobole okulangirira ebyo Ya by’akola.+ 18  Ya yankangavvula nnyo,+Naye teyampaayo eri okufa.+ 19  Munzigulirewo enzigi ez’obutuukirivu;+Nja kuyingira ntendereze Ya. 20  Guno gwe mulyango gwa Yakuwa. Omutuukirivu ajja kuyita omwo ayingire.+ 21  Nja kukutendereza kubanga wannyanukula+Era n’ofuuka obulokozi bwange. 22  Ejjinja abazimbi lye baagaanaLye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.*+ 23  Kino Yakuwa y’akikoze,+Era kitwewuunyisa nnyo.+ 24  Luno lwe lunaku Yakuwa lw’ataddewo;Era ku lunaku luno tujja kusanyuka era tujaguze. 25  Ai Yakuwa, tukwegayiridde tulokole! Ai Yakuwa tuyambe tuwangule! 26  Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa;+Tubawa omukisa nga tusinziira mu nnyumba ya Yakuwa. 27  Yakuwa ye Katonda;Atuwa ekitangaala.+ Mwegatte ku kibinja ky’abo abagenda okukwata embaga nga mukutte amatabi g’emiti,+Okutuukira ddala ku mayembe g’ekyoto.+ 28  Ggwe Katonda wange, njanga kukutendereza;Katonda wange, nja kukugulumizanga.+ 29  Mwebaze Yakuwa,+ kubanga mulungi;Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.+

Obugambo Obuli Wansi

“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “mu kifo ekigazi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “awamu n’abo abannyamba.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Wansindika.”
Oba, “n’ery’obuwanguzi.”
Obut., “omutwe gw’ensonda.”