Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 116:1-19

EBIRIMU

  • Oluyimba olwoleka okusiima

    • “Yakuwa nnaamusasula ki?” (12)

    • “Nja kutoola ekikopo eky’obulokozi” (13)

    • “Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa” (14, 18)

    • Okufa kw’abantu abeesigwa kwa muwendo nnyo (15)

116  Njagala Yakuwa,Olw’okuba awulira* eddoboozi lyange, olw’okuba awulira okuwanjaga kwange.+   Atega okutu n’ampuliriza,*+Era nja kumukoowoola obulamu bwange bwonna.*   Emiguwa gy’okufa gyanneezingirira;Amagombe* gannyweza.+ Ennaku n’obuyinike byansukkirirako.+   Naye nnakoowoola erinnya lya Yakuwa ne ŋŋamba nti:+ “Ai Yakuwa mponya!”   Yakuwa wa kisa era mutuukirivu;+Katonda waffe musaasizi.+   Yakuwa akuuma abatalina bumanyirivu.+ Amaanyi bwe gaali gampedde, yandokola.   Sijja kuddamu kweraliikirira,Kubanga Yakuwa ankoledde eby’ekisa.   Omponyezza okufa. Owonyezza amaaso gange okukaaba, n’ekigere kyange okwesittala.+   Nja kutambulira mu maaso ga Yakuwa nga nkyali mulamu. 10  Nnalina okukkiriza, kyennava njogera+Wadde nga nnali mbonaabona nnyo. 11  Nnatya ne ŋŋamba nti: “Buli muntu mulimba.”+ 12  Yakuwa nnaamusasula kiOlw’ebirungi byonna by’ankoledde? 13  Nja kutoola ekikopo eky’obulokozi,*Era nja kukoowoola erinnya lya Yakuwa. 14  Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa,Mu maaso g’abantu be bonna.+ 15  Mu maaso ga Yakuwa,Okufa kw’abantu be abeesigwa kwa muwendo nnyo.+ 16  Ai Yakuwa nkwegayirira,Kubanga ndi muweereza wo. Ndi muweereza wo, omwana w’omuzaana wo. Onsumuludde enjegere.+ 17  Nja kuwaayo gy’oli ssaddaaka ey’okwebaza;+Nja kukoowoola erinnya lya Yakuwa. 18  Nja kusasula bye nneeyama eri Yakuwa,+Mu maaso g’abantu be bonna,+ 19  Mu mpya z’ennyumba ya Yakuwa,+Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Ya!*+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “Njagala kubanga Yakuwa awulira.
Oba, “Akutama n’ampuliriza.”
Obut., “mu nnaku zange.”
Oba, “eky’obulokozi obw’ekitalo.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.