Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 110:1-7

EBIRIMU

  • Kabaka era kabona alinga Merukizeddeeki

    • ‘Fugira wakati mu balabe bo’ (2)

    • Abavubuka abeewaayo kyeyagalire balinga omusulo (3)

Zabbuli ya Dawudi. Oluyimba. 110  Yakuwa yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo+Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo.”+   Yakuwa alisindika ddamula y’obuyinza bwo okuva mu Sayuuni ng’agamba nti: “Genda ng’owangula wakati mu balabe bo.”+   Abantu bo balyewaayo kyeyagalire ku lunaku lw’olikulemberamu eggye lyo* okulwana. Mu butukuvu obw’ekitaloOlina ekibinja ky’abavubuka abalinga amatondo g’omusulo ogw’oku makya ennyo.   Yakuwa alayidde era talikyusa kirowoozo:* “Oli kabona emirembe gyonna+Nga Merukizeddeeki!”+   Yakuwa aliba ku mukono gwo ogwa ddyo;+Alisaanyaawo bakabaka ku lunaku olw’obusungu bwe.+   Alisalira amawanga omusango;+Alijjuza ensi emirambo.+ Alisaanyaawo omukulembeze* w’ensi ennene.*   Alinywa* mu kagga ak’oku kkubo;Kyaliva ayimusa omutwe gwe waggulu.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ku lunaku eggye lyo lwe liryeteekateeka.”
Oba, “talyejjusa.”
Obut., “omutwe.”
Oba, “ow’ensi yonna.”
Ono ye “Mukama wange” ayogerwako mu lunyiriri 1.