Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 104:1-35

EBIRIMU

  • Okutendereza Katonda olw’ebitonde ebyewuunyisa

    • Ensi ya kubeerawo emirembe gyonna (5)

    • Omwenge n’emmere byaweebwa omuntu (15)

    • “Bye wakola nga bingi!” (24)

    • ‘Omwoyo bwe gubiggibwako nga bifa’ (29)

104  Ka ntendereze Yakuwa.+ Ai Yakuwa Katonda wange, oli wa kitalo nnyo.+ Oyambadde ekitiibwa n’obulungi.+   Weezingiridde ekitangaala+ ng’eyeezingiridde olugoye;Oyanjuluza eggulu ng’omutanda gwa weema.+   Ye ggwe azimba ebisenge byo ebya waggulu mu mazzi agali waggulu,*+Ofuula ebire eggaali lyo,+Otambulira ku biwaawaatiro by’empewo.+   Bamalayika bo obafuula myoyo,Abaweereza bo obafuula muliro ogusaanyaawo.+   Wateeka ensi ku misingi gyayo;+Teriggibwa mu kifo kyayo* emirembe n’emirembe.+   Wagibikka amazzi amangi ng’agibikkako olugoye.+ Amazzi gaabuutikira ensozi.   Waboggola ne gadduka;+Gaawulira okubwatuka kwo ne gaduma   —Ensozi zaayambuka+ ate ebiwonvu ne bikka—Mu bifo bye wabiteerawo.   Wagateerawo ensalo gye gatalina kusukka,+Galeme okuddamu okubikka ensi nate. 10  Osindika ensulo mu biwonvu;Zikulukutira wakati w’ensozi. 11  Ziwa ensolo zonna ez’omu nsiko amazzi;Endogoyi ez’omu nsiko zinywa ne ziwona ennyonta. 12  Ebinyonyi bizimba ebisu mu miti egiri okumpi n’amazzi ago;Biyimbira mu matabi gaagyo. 13  Ofukirira ensozi ng’oyima mu bisenge byo ebya waggulu.+ Ensi ejjudde ebibala by’emirimu gyo.+ 14  Ente ozimereza omuddo,N’abantu ebimera bye beetaaga,+Okola bw’otyo emmere esobole okukula okuva mu ttaka, 15  Awamu n’omwenge ogusanyusa emitima gy’abantu,+N’amafuta aganyiriza mu maaso,N’emmere ebeesaawo omutima gw’abantu.+ 16  Emiti gya Yakuwa gifuna amazzi mangi,Emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni gye yasimba, 17  Ebinyonyi mwe bizimba ebisu. Mu miti egy’emiberosi enkoonamasonko+ mwe zibeera. 18  Ensozi empanvu za mbuzi ez’oku nsozi;+Mu njazi obumyu obw’omu njazi mwe bwekweka.+ 19  Wakola omwezi okulaga ebiseera;Enjuba emanyi bulungi ddi lw’erina okugwa.+ 20  Oleeta enzikiza obudde ne buziba,+Ensolo zonna ez’omu bibira ne zitandika okutambulatambula. 21  Empologoma envubuka ziwuluguma nga ziyigga eky’okulya,+Era zinoonya eky’okulya Katonda ky’anaaziwa.+ 22  Enjuba bw’evaayo,Nga zigenda zigalamira mu bisulo byazo. 23  Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,Ne bakola okutuusa akawungeezi. 24  Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa!+ Byonna wabikola n’amagezi.+ Ensi ejjudde ebintu bye wakola. 25  Waliwo ennyanja ennene ennyo,Erimu ebiramu ebitabalika, ebinene n’ebitono.+ 26  Okwo ebyombo kwe bitambulira,Ne Leviyasani,*+ gye wakola okuzannyira omwo. 27  Byonna birindirira ggwe,Obiwe emmere mu kiseera ekituufu.+ 28  Gy’obiwa gye birya.+ Bw’oyanjuluza engalo zo, nga bifuna ebintu ebirungi bingi.+ 29  Bw’okweka obwenyi bwo, nga bisoberwa. Bw’obiggyako omwoyo gwabyo, nga bifa nga biddayo mu nfuufu.+ 30  Bw’osindika omwoyo gwo, nga bitondebwa,+Era ensi n’ogizza buggya. 31  Ekitiibwa kya Yakuwa kya kubaawo emirembe n’emirembe. Yakuwa ajja kusanyukira emirimu gye.+ 32  Atunuulira ensi n’ekankana;Akwata ku nsozi ne zinyooka.+ 33  Nja kuyimbira Yakuwa+ obulamu bwange bwonna;Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Katonda wange ekiseera kyonna kye nnaamala nga ndi mulamu.+ 34  Ebirowoozo byange ka bimusanyusenga.* Nja kusanyukiranga mu Yakuwa. 35  Aboonoonyi bajja kuggwaawo mu nsi,Era ababi bajja kuba tebakyaliwo.+ Ka ntendereze Yakuwa. Mutendereze Ya!*

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “mu mazzi.”
Oba, “Terisagaasagana.”
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ebyo bye mmulowoozaako ka bibeere nga bisanyusa.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.