Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 10:1-18

EBIRIMU

  • Yakuwa, omuyambi w’abo abatalina buyambi

    • Omubi agamba nti: “Teri Katonda” (4)

    • Yakuwa ayamba abanaku (14)

    • “Yakuwa Kabaka emirembe n’emirembe” (16)

ל [Lamedi] 10  Ai Yakuwa, lwaki oyimirira wala? Lwaki weekweka mu biseera eby’obuyinike?+   Olw’amalala, omubi akijjanya oyo ateesobola,+Naye enkwe z’asala zijja kukwasa ye.+   Omubi yeenyumiririza mu kwegomba kwe okubi,+Era asabira ow’omululu omukisa;*נ [Nuni] Anyooma Yakuwa.   Mu malala ge, omubi tanoonyereza;Mu birowoozo bye byonna agamba nti: “Teri Katonda.”+   By’akola bimugendera bulungi,+Naye amateeka go gamusukkulumyeko, tagategeera;+Anyooma abalabe be bonna.   Agamba mu mutima gwe nti: “Sirisagaasagana;*Sirituukibwako kabiEmirembe gyonna.”+ פ [Pe]   Akamwa ke kajjudde ebikolimo, obulimba, n’okutiisatiisa;+Olulimi lwe lwogera ebigambo eby’omutawaana era ebirumya.+   Ateega okumpi n’ebyalo;Avaayo gye yeekwese n’atta omuntu atalina musango.+ ע [Ayini] Aliimisa alabe gw’ayinza okukola akabi.+   Yeekweka n’ateega ng’empologoma eri mu bwekwekero bwayo.*+ Ateega okukwasa oyo ateesobola. Amukwasa bw’asika ekitimba kye ne kyesiba.+ 10  Oyo ateesobola amaanyi gamuggwa n’agwa wansi;Abo be biggidde obubi bagwa mu mikono gye.* 11  Agamba mu mutima gwe nti: “Katonda yeerabidde.+ Atunudde eri. Talaba.”+ ק [Kofu] 12  Situka, Ai Yakuwa.+ Ai Katonda, yimusa omukono gwo.+ Abateesobola tobeerabira.+ 13  Lwaki omubi anyooma Katonda? Agamba mu mutima gwe nti: “Tojja kunvunaana.” ר [Lesu] 14  Naye ggwe olaba emitawaana n’ennaku. Olaba n’obaako ky’okolawo.+ Oyo ali mu buzibu addukira gy’oli;+Ggwe ayamba omwana atalina kitaawe.*+ ש [Sini] 15  Menya omukono gw’omubi;+Awo bw’onoonoonya ebintu ebibi by’akola,Tojja kuddamu kubiraba. 16  Yakuwa Kabaka emirembe n’emirembe.+ Amawanga gasaanyeewo ku nsi.+ ת [Tawi] 17  Naye ojja kuwulira okwegayirira kw’abawombeefu, Ai Yakuwa.+ Ojja kugumya emitima gyabwe+ era obawulirize.+ 18  Ensonga z’abaana abatalina bakitaabwe n’abo abanyigirizibwa+ ojja kuzikwata mu bwenkanya,Abantu baleme kuddamu kubatiisatiisa.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “ow’omululu yeesabira omukisa.”
Oba, “Siritagala.”
Oba, “mu kisaka kyayo.”
Oba, “mu maala ge amagumu.”
Oba, “mulekwa.”