Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Zabbuli 1:1-6

EBIRIMU

  • Amakubo abiri ag’enjawulo

    • Okusoma amateeka ga Katonda kireeta essanyu (2)

    • Abatuukirivu balinga omuti ogubala (3)

    • Ababi balinga ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga (4)

1  Alina essanyu omuntu atakolera ku magezi g’ababi,Wadde okuyimirira mu kkubo ly’aboonoonyi,+Wadde okutuula awamu n’abanyoomi.+   Naye amateeka ga Yakuwa ge gamusanyusa,+Era asoma amateeka ge n’agafumiitirizaako emisana n’ekiro.+   Anaabanga ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’emikutu gy’amazzi,Ogubala ebibala mu kiseera kyagwo,Era ebikoola byagwo tebiwotoka. Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.+   Ababi bo tebali bwe batyo;Balinga ebisusunku empewo by’efuumuula.   Eyo ye nsonga lwaki ababi tebalisigala nga bayimiridde ng’omusango gusalibwa;+Era aboonoonyi tebalisigala nga bayimiridde mu kibiina ky’abatuukirivu.+   Kubanga Yakuwa amanyi ekkubo ly’abatuukirivu,+Naye ekkubo ly’ababi lirisaanawo.+

Obugambo Obuli Wansi