Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Yoswa 14:1-15

EBIRIMU

  • Okugabanyaamu ensi ebugwanjuba wa Yoludaani (1-5)

  • Kalebu aweebwa Kebbulooni ng’obusika (6-15)

14  Buno bwe busika Abayisirayiri bwe baafuna mu nsi ya Kanani, obwabaweebwa Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni awamu n’abakulu b’ebika by’Abayisirayiri.+  Obusika obwaweebwa ebika omwenda n’ekitundu,+ bwagabibwa nga bakuba kalulu,+ nga Yakuwa bwe yali alagidde okuyitira mu Musa.  Ebika ebibiri n’ekitundu Musa yali abiwadde obusika emitala wa Yoludaani;*+ naye Abaleevi teyabawa busika mu bo.+  Bazzukulu ba Yusufu baali batwalibwa okuba ebika bibiri,+ Manase ne Efulayimu;+ Abaleevi tebaaweebwa mugabo mu nsi okuggyako ebibuga+ eby’okubeeramu n’ebifo eby’okulundiramu n’okuteekamu ebintu byabwe.+  Bwe batyo Abayisirayiri ne bagabanyaamu ensi nga Yakuwa bwe yali alagidde Musa.  Awo abasajja ba Yuda ne batuukirira Yoswa e Girugaali,+ era Kalebu+ mutabani wa Yefune Omukenizi n’amugamba nti: “Omanyi bulungi Yakuwa kye yagamba+ Musa omusajja wa Katonda ow’amazima,+ e Kadesi-baneya,+ ekikwata ku nze naawe.  Nnalina emyaka 40 Musa omuweereza wa Yakuwa we yantumira okuva e Kadesi-baneya okuketta ensi,+ era nnaddayo ne mmutegeeza ebintu byonna nga bwe nnabiraba.+  Wadde baganda bange be nnagenda nabo baaleetera abantu okutya,* nze nnagondera Yakuwa Katonda wange n’omutima gwange gwonna.*+  Musa yalayira ku lunaku olwo n’agamba nti: ‘Ensi gy’olinnyeemu ekigere kyo eriba busika obw’olubeerera gy’oli n’abaana bo, kubanga ogondedde Yakuwa Katonda wange n’omutima gwo gwonna.’+ 10  Era nga bwe yasuubiza,+ Yakuwa ankuumye nga ndi mulamu+ emyaka gino 45 bukya Yakuwa agamba Musa ebigambo ebyo ng’Abayisirayiri batambula mu ddungu;+ nkyaliwo ne leero, era nnina emyaka 85. 11  Era leero nkyalina amaanyi nga ku lunaku Musa lwe yantuma. Nkyalina amaanyi okulwana entalo n’okukola ebintu ebirala, nga ge nnalina mu kiseera ekyo. 12  Kale kaakano, mpa ekitundu kino eky’ensozi nga Yakuwa bwe yasuubiza ku lunaku olwo. Wadde nga ku lunaku olwo wawulira nti ekitundu ekyo kyalimu Abaanaki+ n’ebibuga ebinene ebiriko bbugwe,+ mazima ddala* Yakuwa ajja kubeera nange+ era nja kubagobamu, nga Yakuwa bwe yasuubiza.”+ 13  Awo Yoswa n’awa Kalebu mutabani wa Yefune omukisa era n’amuwa Kebbulooni ng’obusika.+ 14  Kebbulooni kyekyava kibeera obusika bwa Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi n’okutuusa leero, kubanga yagondera Yakuwa Katonda wa Isirayiri n’omutima gwe gwonna.+ 15  Mu kusooka Kebbulooni kyali kiyitibwa Kiriyasu-aluba+ (Aluba yali muntu mukulu mu Baanaki). Awo ensi n’ewummula entalo.+

Obugambo Obuli Wansi

Ku luuyi lwa Yoludaani olw’ebuvanjuba.
Obut., “baaleetera emitima gy’abantu okusaanuuka.”
Obut., “mu bujjuvu.”
Oba, “kirabika.”