Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Yobu 40:1-24

EBIRIMU

  • Yakuwa yeeyongera okubuuza ebibuuzo (1-24)

    • Yobu akkiriza nti talina kya kwogera (3-5)

    • “Onoobuusabuusa obwenkanya bwange?” (8)

    • Katonda ayogera ku maanyi g’envubu (15-24)

40  Yakuwa era n’agamba Yobu nti:   “Oyo anoonya ensobi anaawakanya Omuyinza w’Ebintu Byonna?+ Oyo ayagala okunenya Katonda ayanukule.”+   Awo Yobu n’addamu Yakuwa nti:   “Laba! Sisaanira.+ Kiki kye nnyinza okukuddamu? Nkutte ku mumwa gwange.+   Njogedde omulundi gumu, era sijja kuddamu;Weewaawo emirundi ebiri, era sijja kuddamu kwogera.”   Awo Yakuwa n’addamu Yobu ng’asinziira mu mbuyaga, n’amugamba nti:+   “Weeteeketeeke ng’omusajjaNkubuuze ebibuuzo onziremu.+   Onoobuusabuusa* obwenkanya bwange? Ononsalira omusango, ggwe obeere omutuufu?+   Olina omukono ogw’amaanyi ng’ogwa Katonda ow’amazima,+Oba eddoboozi lyo liyinza okubwatuka ng’erirye?+ 10  Weetoneetone ekitiibwa n’amaanyi;Yambala ekitiibwa n’obulungi. 11  Fuka obusungu bwo obungi;Tunuulira buli muntu yenna ow’amalala omukkakkanye. 12  Tunuulira buli muntu ow’amalala omutoowaze,Era linnyirira ababi mu kifo we bayimirira. 13  Bonna bakweke mu nfuufu;Basibire* mu kifo ekyekusifu, 14  Awo nange nja kukkiriza* ntiOmukono gwo ogwa ddyo gusobola okukulokola. 15  Kale laba envubu gye nnatonda nga bwe nnakutonda. Erya muddo ng’ente. 16  Laba amaanyi agali mu kiwato kyayo,N’amaanyi agali mu binywa by’olubuto lwayo! 17  Ekakanyaza omukira gwayo ne guba ng’omuti gw’entolokyo;Ebinywa by’ebisambi byayo byagattibwa wamu. 18  Amagumba gaayo galinga enseke ez’ekikomo;Amagulu gaayo galinga emitayimbwa. 19  Y’ekwata ekifo ekisooka* mu mirimu gya Katonda;Omutonzi waayo ye yekka ayinza okugisemberera n’ekitala kye. 20  Ensozi ensolo ez’omu nsiko kwe zizannyiraZe zigibaliza emmere. 21  Egalamira wansi w’emiti egy’amaggwa,Mu bitoogo, mu ntobazi. 22  Yeewogoma mu bisiikirize by’emiti egy’amaggwa;Era emiti emyalava egy’omu kiwonvu gigyetooloola. 23  Omugga bwe gwefuukuula, tetya. Omugga Yoludaani+ ne bwe gujjula okutuuka ku kamwa kaayo, tetya. 24  Waliwo ayinza okugikwata ng’eraba,Oba okufumita ennyindo yaayo n’eddobo?*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Onojjulula.”
Obut., “Sibira obwenyi bwabwe.”
Oba, “nja kukutendereza.”
Oba, “Ye ntandikwa.”
Obut., “n’omutego.”