Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Yobu 3:1-26

EBIRIMU

  • Yobu yeevuma olunaku lwe yazaalibwa (1-26)

    • Yeebuuza lwaki abonaabona (20, 21)

3  Oluvannyuma Yobu yatandika okwogera, n’akolimira olunaku lwe yazaalibwa.*+  Yobu n’agamba nti:   “Olunaku lwe nnazaalibwa ka luzikirire,+N’ekiro omuntu mwe yagambira nti: ‘Oli lubuto lwa mwana wa bulenzi!’   Olunaku olwo ka lube ekizikiza. Katonda ali waggulu aleme kulufaako;Ka luleme kuba na kitangaala.   Ekizikiza eky’amaanyi* ka kirweddize. Ekire ekikutte ka kirubikke. Byonna ebireeta ekizikiza ka birutiise.   Ekiro ekyo ka kibuutikirwe ekizikiza ekikutte;+Ka kireme kusanyukira wamu n’ennaku ez’omwaka,Era ka kireme kubalirwa mu myezi.   Mazima ddala! Ekiro ekyo ka kibeerenga kigumba;Ka kiremenga kuwulirwamu maloboozi ga ssanyu.   Abo abakolimira ennaku ka bakikolimire,Abo abasobola okuzuukusa Leviyasani.*+   Emmunyeenye ez’amakya gaakyo ka zikwate ekizikiza;Ekitangaala kye kirindirira ka kireme kulabika,Era ka kireme kulaba mmambya. 10  Kubanga tekyaggala nzigi za lubuto lwa mmange,+Nneme kulaba mitawaana. 11  Lwaki saafa nga nzaalibwa? Lwaki saafa nga nva mu lubuto?+ 12  Lwaki waaliwo amaviivi agandera,Era n’amabeere agannyonsa? 13  Kaakano nnandibadde ngalamidde nga sitawaanyizibwa;+Nnandibadde nneebase era nga mpummudde+ 14  Wamu ne bassekabaka b’ensi n’abawabuzi baabwe,Abeezimbira ebifo kaakano ebyafuuka amatongo, 15  Oba wamu n’abaami abaalina zzaabu,Abaalina ennyumba ezaali zijjudde ffeeza. 16  Lwaki saali ng’omwana afiira mu lubuto lwa nnyina,Ng’abaana abatalabanga ku kitangaala? 17  Eyo mu ntaana n’ababi bakkakkana,Era eyo abakoowu bawummula.+ 18  Eyo abasibe bafuna obuweerero;Tebawulira ddoboozi ly’abo ababawaliriza okukola emirimu. 19  Eyo ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baba benkana,+Era omuddu aba takyafugibwa mukama we. 20  Lwaki Katonda awa ekitangaala oyo abonaabona,Era lwaki awa obulamu abo abali mu nnaku ey’amaanyi?+ 21  Lwaki abo abaagala okufa, tebafa?+ Wadde nga banoonya okufa okusinga eby’obugagga ebyakwekebwa, 22  Bajaganya nnyo,Era basanyuka nnyo bwe batuuka mu ntaana. 23  Lwaki awa ekitangaala omuntu abuliddwa ekkubo,Omuntu Katonda gw’ataddeko ekikomera?+ 24  Kubanga okusinda ye mmere yange,+Okusinda kwange+ kuyiika ng’amazzi. 25  Kye mbadde ntya kye kinzijidde;Era kye mbadde ntya kye kintuuseeko. 26  Sirina mirembe wadde obuweerero,Wadde ekiwummulo, wabula mitawaana gye gyeyongera okujja.”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “n’akolimira olunaku lwe.”
Oba, “ekizikiza n’ekisiikirize ky’okufa.”
Kirabika ono ggoonya oba ekisolo ekirala ekinene eky’omu nnyanja.