Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Yobu 29:1-25

EBIRIMU

  • Yobu ajjukira bwe yali nga tannafuna bizibu (1-25)

    • Yassibwangamu ekitiibwa ku mulyango gw’ekibuga (7-10)

    • Ebikolwa bye eby’obwenkanya (11-17)

    • Buli omu yawulirizanga amagezi ge (21-23)

29  Yobu n’ayongera okwogera ng’agamba nti:   “Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita,Mu kiseera Katonda we yandabiriranga,   Ettaala ye bwe yagimulisanga ku mutwe gwange,Bwe yammulisanga nga ntambulira mu kizikiza,+   Bwe nnali nga nkyali muvubuka,Katonda bwe yali nga ye mukwano gwange ow’oku lusegere era ng’ali mu weema yange,+   Omuyinza w’Ebintu Byonna bwe yali ng’akyali nange,Nga n’abaana* bange banneetoolodde,   Ebigere byange bwe byasaabanga omuzigo,Nga n’enjazi zinfukira emigga gy’amafuta.+   Bwe nnagendanga ku mulyango gw’ekibuga,+Ne ntuula mu kibangirizi ekya lukale,+   Abavubuka bandabanga ne bansegulira,*N’abasajja abakadde baasitukanga ne bayimirira.+   Abakungu tebaayogeranga;Baakwatanga ku mimwa. 10  Ab’ebitiibwa tebaanyeganga;Olulimi lwabwe lwakwatiranga ku kibuno kyabwe. 11  Buli eyampuliranga yanjogerangako bulungi,N’abo abandabanga banjogerangako birungi. 12  Kubanga nnayambanga abaavu abansabanga obuyambi,+N’omwana atalina kitaawe n’omuntu yenna ataalina amuyamba.+ 13  Gwe nnawonyanga yansabiranga omukisa,+Nnasanyusanga omutima gwa nnamwandu.+ 14  Obutuukirivu nnabwambalanga ng’olugoye;Obwenkanya bwange bwali ng’ekyambalo* era ng’ekiremba. 15  Nnabanga maaso eri muzibeEra nnabanga bigere eri omulema. 16  Nnali kitaawe w’abaavu;+Nnanoonyerezanga ku nsonga z’abo be nnali simanyi.+ 17  Nnamenyanga emba z’omwonoonyi+Ne nzigya omuyiggo mu kamwa ke. 18  Nnagambanga nti, ‘Nja kufiira mu maka gange,*+Era ennaku zange zijja kuba nnyingi ng’omusenyu. 19  Emirandira gyange gijja kulanda gituuke awali amazzi,N’omusulo gujja kubeera ku matabi gange ekiro kyonna. 20  Ekitiibwa kyange kizzibwa buggya buli kiseera,Era omutego oguli mu mukono gwange gunaalasanga obusaale.’ 21  Abantu bantegeranga amatu,Ne balindirira mu kasirise mbawe amagezi.+ 22  Bwe nnamalanga okwogera, tewali kye baayongerangako;Ebigambo byange byagwanga* mpolampola mu matu gaabwe. 23  Bannindiriranga ng’abalindirira enkuba;Baamiranga ebigambo byange ng’abamira enkuba eya ttoggo.+ 24  Bwe nnabamwenyezanga, nga tebayinza na kukikkiriza;Essanyu lye nnayolekanga ku maaso lyabazzangamu amaanyi. 25  Ng’omukulembeze waabwe, nnabawanga obulagirizi,Nnali nga kabaka ali mu ggye lye,+Era ng’omuntu abudaabuda abakungubaga.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “n’abaweereza.”
Obut., “ne beekweka.”
Oba, “ng’ekizibaawo ekitaliiko mikono.”
Obut., “mu kisu kyange.”
Obut., “byatonnyanga.”