Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Yobu 18:1-21

EBIRIMU

  • Okwogera kwa Birudaadi okw’okubiri (1-21)

    • Ayogera ebituuka ku bakozi b’ebibi (5-20)

    • Agamba nti Yobu tamanyi Katonda (21)

18  Awo Birudaadi+ Omusuuki n’addamu nti:   “Onookoma ddi okwogera bw’otyo? Sooka okirage nti otegeera, naffe tulyoke twogere.   Lwaki otutwala ng’ensolo+Era ng’abasiru?*   Ne bwe weetaagulataagula olw’obusungu,Ensi eneeyabulirwa ku lulwo,Oba olwazi lunaava mu kifo kyalwo?   Mu butuufu, ettaala y’omubi ejja kuzikizibwa,N’omuliro gwe gujja kulekera awo okwaka.+   Ekitangaala ky’omu weema ye kijja kufuuka kizikiza,N’ettaala emumulisa ejja kuzikizibwa.   Takyatambuza maanyi,N’amagezi ge gajja kumusuula.+   Ebigere bye bijja kumutwala mu kitimba,Era ajja kutambula akigwemu.   Omutego gujja kumukwata ekisinziiro;Ekyambika kijja kumunyweza.+ 10  Bamuteze omuguwa mu ttaka,Era bateze omutego mu kkubo lye. 11  Ebitiisa bimwetoolodde enjuyi zonna+Era bimugoba bugeregere. 12  Aggwaamu amaanyi,N’akatyabaga+ kajja kumuleetera okutagala.* 13  Olususu lwe luliiriddwa;Ekirwadde eky’akabi kimulidde* emikono n’amagulu. 14  Asikambulwa mu weema ye+N’atwalibwa eri kabaka w’entiisa. 15  Abantu b’atamanyi* bajja kubeera mu weema ye;Amayinja agookya gajja kumansirwa mu maka ge.+ 16  Emirandira gye gijja kukalira wansi we,N’amatabi ge gajja kuwotokera waggulu we. 17  Taliddamu kujjukirwa ku nsi,N’erinnya lye teririmanyibwa* mu nguudo. 18  Ajja kuggibwa mu kitangaala atwalibwe mu kizikiza,Era ajja kugobebwa mu nsi. 19  Taliba na mwana wadde omuzzukulu mu bantu be,Era w’abeera* tewalisigalawo muntu n’omu. 20  Olunaku lwe bwe lunaatuuka, abantu b’Ebugwanjuba bajja kuwuniikirira,N’abantu b’Ebuvanjuba bajja kutya. 21  Ekyo kye kituuka ku weema z’omukozi w’ebibi,Ne ku kifo ky’oyo atamanyi Katonda.”

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “ng’abatali balongoofu.”
Oba, “okuwenyera.”
Obut., “Omubereberye w’okufa amulidde.”
Obut., “Ekintu ekitali kikye.”
Obut., “Era taliba na linnya.”
Oba, “w’abeera akaseera obuseera.”