Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Yobu 17:1-16

EBIRIMU

  • Yobu yeeyongera okuddamu (1-16)

    • “Abakudaazi banneetoolodde” (2)

    • “Anfudde eky’okusekererwa” (6)

    • “Amagombe ge gajja okuba amaka gange” (13)

17  “Amaanyi gampedde, ennaku zange ziweddeyo;Entaana y’ennindiridde.+   Abakudaazi banneetoolodde,+Era amaaso gange galaba ebikolwa byabwe eby’obujeemu.   Nkusaba okkirize kye nkusingira, era okikuume. Omulala anankwata mu ngalo n’anneeyimirira y’ani?+   Kubanga emitima gyabwe ogikisizza okutegeera;+Eyo ye nsonga lwaki tobagulumiza.   Ebintu bye asobola okubigabirako mikwano gye,Ng’ate amaaso g’abaana be gayimbaala olw’enjala.   Anfudde eky’okusekererwa* mu bantu,+Era mpandulirwa amalusu mu maaso.+   Ennaku ereetedde amaaso gange okuyimbaala,+Era nzenna nkozze.   Abantu abatuukirivu bandaba ne beewuunya,N’ataliiko musango anakuwala olw’oyo atatya Katonda.*   Omutuukirivu yeeyongera okunywerera mu kkubo lye,+N’ataliiko musango yeeyongera okuba n’amaanyi.+ 10  Kale mmwenna mukomeewo muddemu bye mubadde mwogera,Kubanga mu mmwe sirabyemu muntu wa magezi.+ 11  Ennaku zange ziweddeyo;+Bye mbadde nteekateeka, bye mbadde nneegomba, bikomye.+ 12  Ekiro bakiyita misana,Nga bagamba nti, ‘Bunaatera okutangaala kubanga obudde buzibye.’ 13  Bwe nnindirira, amagombe* ge gajja okuba amaka gange;+Nja kwala obuliri bwange mu kizikiza.+ 14  Entaana*+ nja kugigamba nti, ‘Ggwe kitange!’ N’envunyu ngigambe nti, Ggwe mmange era mwannyinaze!’ 15  Kale essuubi lyange liri ludda wa?+ Waliwo omuntu yenna ayinza okugamba nti nnina essuubi? 16  Lijja kukkirira mu miryango gy’amagombe* egisibiddwa,Ffenna lwe tulikkirira mu nfuufu.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “olugero; eŋŋombo.”
Oba, “olwa kyewaggula.”
Laba Awanny.
Obut., “Ekinnya.”
Laba Awanny.