Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Yeremiya 45:1-5

EBIRIMU

  • Obubaka bwa Yakuwa eri Baluki (1-5)

45  Bino bye bigambo nnabbi Yeremiya bye yategeeza Baluki+ mutabani wa Neriya, bwe yawandiika mu kitabo ebyo Yeremiya bye yamutegeeza+ mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu+ owa Yuda, mutabani wa Yosiya:  Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’ayogera ku ggwe Baluki,  ‘Ogambye nti: “Zinsanze, kubanga Yakuwa ayongedde obuyinike ku bulumi bwange! Okusinda kwange kunkooyezza, era sifunye kiwummulo.”’  “Mugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba! Mmenya bye nnazimba, era nsimbula bye nnasimba—ensi eno yonna.+  Naye weenoonyeza* ebikulu. Lekera awo okunoonya ebintu ng’ebyo.”’ “‘Kubanga nnaatera okuleeta akabi ku bantu bonna,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘era yonna gy’onoogenda nja kuwonyaawo obulamu bwo.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “osuubira.”