Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Yeremiya 19:1-15

EBIRIMU

  • Yeremiya agambibwa okumenya ensumbi ey’ebbumba (1-15)

    • Okusaddaakira Bbaali abaana (5)

19  Bw’ati Yakuwa bwe yaŋŋamba: “Genda ogule ensumbi ew’omubumbi.+ Twala abamu ku bakulembeze b’abantu n’abamu ku bakulembeze ba bakabona,  ogende mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu,+ ku Mulyango gw’Enzigyo, era ng’oli eyo olangirire bye nnaakugamba.  Ojja kugamba nti, ‘Muwulire ekigambo kya Yakuwa, mmwe bakabaka ba Yuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi. Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “‘“Ŋŋenda kuleeta akabi ku kifo kino, era buli anaakawulirako amatu gajja kumuwaawaala.  Ekyo nja kukikola olw’okuba banvaako+ era ekifo kino ne bakifuula ekitakyategeerekeka.+ Baweerayo mu kyo ssaddaaka eri bakatonda abalala, bajjajjaabwe ne bakabaka ba Yuda be baali batamanyi, era ekifo kino bakijjuzza omusaayi gw’abantu abataliiko musango.+  Baazimba ebifo ebigulumivu eby’okusinzizaamu Bbaali, okwokya abaana baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Bbaali,+ ekintu kye saalagira, kye soogerangako, era ekitayingirangako mu mutima gwange.”’*+  “‘“Kale laba! ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba, “ekifo kino lwe kiriba nga tekikyayitibwa Tofesi oba Ekiwonvu ky’Omwana wa Kinomu, wabula Ekiwonvu eky’Okuttiramu.+  Nja kutaataaganya enteekateeka za Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino, era nja kubaleetera okuttibwa ekitala mu maaso g’abalabe baabwe n’okuttibwa abo abaagala okubatta. Ate era emirambo gyabwe nja kugiwa ebinyonyi n’ebisolo bigirye.+  Ekibuga kino nja kukifuula ekifo eky’entiisa era ekintu abantu kye bafuuyira oluwa. Buli anaayitangawo anaatunulanga n’atya era n’afuuwa oluwa olw’ebibonyoobonyo byakyo byonna.+  Era nja kubaleetera okulya batabani baabwe ne bawala baabwe, era buli omu ajja kulya munne, olw’okunyigirizibwa n’ennaku abalabe baabwe n’abo abaagala okubatta gye balibaleetako.”’+ 10  “Awo olyoke oyase ensumbi ng’abasajja b’ogenze nabo balaba, 11  obagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Bwe ntyo bwe nja okwasaayasa abantu bano n’ekibuga kino, ng’omuntu bw’ayasaayasa ekibya ne kiba nga tekisobola kuzzibwawo; era bajja kuziika emirambo mu Tofesi okutuusa nga tekikyalimu kifo kya kuziikamu.”’+ 12  “‘Ekyo kye nja okukola ekifo kino n’abakibeeramu,’ Yakuwa bw’agamba, ‘ekibuga kino nkifuule nga Tofesi. 13  Ennyumba z’omu Yerusaalemi n’ennyumba za bakabaka ba Yuda zijja kufuuka ezitali nnongoofu ng’ekifo kino, Tofesi,+ kubanga waggulu ku nnyumba ezo baaweerangayo ssaddaaka eri eggye lyonna ery’oku ggulu,+ era n’ebiweebwayo ebinywebwa eri bakatonda abalala.’”+ 14  Yeremiya bwe yakomawo okuva e Tofesi Yakuwa gye yali amutumye okulagulira, n’ayimirira mu luggya lw’ennyumba ya Yakuwa n’agamba abantu bonna nti: 15  “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Laba, ŋŋenda kuleeta akabi ku kibuga kino ne ku bubuga bwakyo bwonna, akabi konna ke nnagamba okukireetako, kubanga baagaana* okugondera ebigambo byange.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ekitayingirangako mu birowoozo byange.”
Obut., “baakakanyaza ensingo yaabwe baleme.”