Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Yeremiya 10:1-25

EBIRIMU

  • Enjawulo eriwo wakati wa bakatonda b’amawanga ne Katonda omulamu (1-16)

  • Okuzikirizibwa n’okuwaŋŋangusibwa kuli kumpi (17, 18)

  • Yeremiya alojja ennaku ye (19-22)

  • Essaala ya Yeremiya (23-25)

    • Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye (23)

10  Muwulire ekigambo Yakuwa ky’aboogeddeko mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri.  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Temuyiga makubo ga mawanga,+Era temutya bubonero obw’oku gguluOlw’okuba ab’amawanga babutya.+   Empisa z’amawanga tezirina kye zigasa. Omubazzi atema omuti mu kibira,N’agukolamu ebifaananyi.+   Babiteekako ffeeza ne zzaabu okubiwunda+Ne babikomereramu emisumaali bireme okugwa.+   Okufaananako ebifaananyi ebikanga ebisolo mu nnimiro za ccukamba, nabyo tebisobola kwogera;+Balina kubisitula busituzi olw’okuba tebisobola kutambula.+ Tobitya kubanga tebisobola kukola kabi konna,Wadde okukola ekirungi kyonna.”+   Tewali alinga ggwe, Ai Yakuwa.+ Oli wa kitalo; erinnya lyo kkulu era lya maanyi.   Ani ataakutye, Ai ggwe Kabaka w’amawanga?+ Kubanga ogwanidde okutiibwa;Tewali n’omu alinga ggwe,+Mu b’amagezi bonna ab’omu mawanga n’ab’omu bwakabaka bwabwe bwonna.   Bonna tebategeera era basirusiru.+ Okuyigirizibwa okuva eri ebifaananyi ebyakolebwa mu muti kubuzaabuza abantu.+   Obubaati bwa ffeeza buva mu Talusiisi,+ ne zzaabu ava Yufaazi,Abaweesi n’abakugu mu mirimu gy’emikono bamuteeka ku bifaananyi eby’emiti. Abantu babyambaza engoye ezikoleddwa mu wuzi eza bbulu n’eza kakobe. Byonna bikolebwa bantu bakugu. 10  Naye Yakuwa ye Katonda ddala. Ye Katonda omulamu+ era ye Kabaka ow’emirembe n’emirembe.+ Ensi ejja kukankana olw’obusungu bwe,+Era tewali ggwanga linaasobola kugumira kiruyi kye. 11  * Bw’oti bw’oba obagamba: “Bakatonda abataakola ggulu na nsiBajja kusaanawo ku nsi ne wansi w’eggulu lino.”+ 12  Ye yakola ensi ng’akozesa amaanyi ge,Ye yanyweza ensi ng’akozesa amagezi ge,+Era ye yabamba eggulu ng’akozesa okutegeera kwe.+ 13  Eddoboozi lye lireeteraAmazzi agali mu ggulu okuyira,+Era aleetera ebire okwambuka nga biva ku nkomerero y’ensi.+ Akolera enkuba ebimyanso,*Era aggya empewo mu materekero ge.+ 14  Abantu bonna beeyisa mu ngeri etali ya magezi era etayoleka kumanya. Abaweesi bonna bajja kuswala olw’ebifaananyi ebyole;+Kubanga ebifaananyi byabwe eby’ebyuma* bya bulimba,Era tebiriimu mwoyo.*+ 15  Tebirina kye bigasa,* era bigwana kusekererwa.+ Olunaku olw’okubisalira omusango bwe lulituuka birisaanawo. 16  Katonda wa* Yakobo talinga byo,Kubanga ye yakola ebintu byonna,Era Isirayiri gwe muggo gw’obusika bwe.+ Yakuwa ow’eggye lye linnya lye.+ 17  Ggwe omukazi gwe bazingizza,Kwata omugugu gwo oguggye wansi. 18  Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mu kiseera kino ŋŋenda kugoba* abantu mu nsi eno,+Era nja kubaleetera okunakuwala.” 19  Zinsanze olw’obuvune bwange!+ Ekiwundu kyange tekisobola kuwona. Era nnagamba nti: “Eno ndwadde yange, era nnina okugigumira. 20  Weema yange eyonooneddwa era emiguwa gya weema yange gyonna gikutuse.+ Abaana bange bandese era baweddewo.+ Tewali muntu asigaddewo ow’okusimba weema yange. 21  Abasumba beeyisizza mu ngeri ey’obusirusiru,+Era tebeebuuzizza ku Yakuwa.+ Eyo ye nsonga lwaki tebeeyisizza mu ngeri ey’amagezi,Era ye nsonga lwaki endiga zaabwe zonna zisaasaanye.”+ 22  Wulira amawulire! Omusinde ogw’amaanyi guwulirwa nga guva mu nsi y’ebukiikakkono,+Okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, era ekisulo ky’ebibe.+ 23  Nkimanyi bulungi, Ai Yakuwa, nti omuntu talina buyinza kweruŋŋamya. Omuntu talina buyinza kuluŋŋamya bigere bye.+ 24  Ai Yakuwa, ngolola mu bwenkanya,Naye tongolola mu busungu,+ oleme okunzikiriza.+ 25  Fuka obusungu bwo ku mawanga agakwesamba+Ne ku bika byonna ebitakoowoola linnya lyo. Kubanga balidde Yakobo,+Bamulidde okutuuka okumumalirawo ddala,+Era ensi ye bagifudde matongo.+

Obugambo Obuli Wansi

Olunyiriri 11 lwasooka kuwandiikibwa mu Lulamayiki.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “aw’okuyita.”
Oba, “ebisaanuuse.”
Oba, “mukka.”
Oba, “Butaliimu.”
Obut., “Omugabo gwa.”
Oba, “kuvuumuula.”