Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Omubuulizi 11:1-10

EBIRIMU

  • Kozesa buli kakisa k’ofuna (1-8)

    • Suula omugaati gwo ku mazzi (1)

    • Siga ensigo zo okuva ku makya okutuusa akawungeezi (6)

  • Weeyise n’amagezi mu buvubuka bwo (9, 10)

11  Suula omugaati gwo ku mazzi,+ kubanga oliddamu n’ogulaba nga wayiseewo ennaku nnyingi.+  Ku by’olina gabirako abantu musanvu oba munaana,+ kubanga tomanyi katyabaga kanaagwaawo ku nsi.  Ebire bwe bijjula amazzi, bivaamu enkuba n’etonnya ku nsi; n’omuti bwe gugwa ku luuyi olw’ebukiikaddyo oba olw’ebukiikakkono, we gugwa we gusigala.  Atunuulira embuyaga talisiga, n’oyo atunuulira ebire talikungula.+  Nga bw’otomanyi ngeri mwoyo gye gukolera mu magumba g’omwana ali mu nda y’omukazi,*+ era bw’otyo bw’otomanyi mulimu gwa Katonda ow’amazima, akola ebintu byonna.+  Siga ensigo zo ku makya, era towummuza mukono gwo okutuusa akawungeezi,+ kubanga tomanyi zinaamera, oba zino oba ziri, era obanga zonna zinaamera.  Ekitangaala kisanyusa, era kiba kirungi amaaso okulaba omusana.  Omuntu bw’awangaala emyaka emingi, asaanidde agisanyukiremu gyonna.+ Naye akijjukire nti ennaku ez’obuyinike ziyinza okuba ennyingi; byonna ebinajja butaliimu.+  Muvubuka, sanyuka ng’okyali muto era omutima gwo gubeere musanyufu ng’okyali muvubuka. Tambulira mu makubo g’omutima gwo era genda amaaso go gye gakutwala; naye kimanye nti Katonda ow’amazima ajja kukusalira omusango olw’ebyo byonna.+ 10  N’olwekyo, omutima gwo guggyeemu ebintu ebikuteganya, era n’omubiri gwo guggyeemu ebintu eby’akabi, kubanga obuto n’obuvubuka butaliimu.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “magumba agali mu nda y’omukazi.”