Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Oluyimba lwa Sulemaani 6:1-13

EBIRIMU

  • Abawala ba Yerusaalemi (1)

  • Omuwala (2, 3)

    • “Omwagalwa wange, wange, nange ndi wuwe” (3)

  • Kabaka (4-10)

    • “Olabika bulungi nga Tiruza” (4)

    • Abakazi bye baayogera (10)

  • Omuwala (11, 12)

  • Kabaka (n’abalala) (13a)

  • Omuwala (13b)

  • Kabaka (n’abalala) (13c)

6  “Omwagalwa wo alaze wa,Ggwe asinga abakazi bonna obulungi? Omwagalwa wo akutte kkubo ki? Ka tumunoonyeze wamu naawe.”   “Omwagalwa wange aserengese mu nnimiro ye,Mu nnimiro y’ebimera eby’akaloosa,Okulundirayo ekisibo kye,N’okunoga amalanga.+   Omwagalwa wange, wange,Nange ndi wuwe.+ Alundira endiga mu malanga.”+   “Omwagalwa wange,+ olabika bulungi nga Tiruza,*+Olabika bulungi nga Yerusaalemi,+Owuniikiriza ng’amagye ageetoolodde bbendera zaago.+   Nzigyaako amaaso go,+Kubanga gampangudde. Enviiri zo ziringa ekisibo ky’embuziEzikkirira ku nsozi za Gireyaadi.+   Amannyo go galinga ekisibo ky’endigaEzaakamala okunaazibwa,Nga zonna zaazaala balongo,Era nga tewali n’emu ebuliddwako mwana gwayo.   Amatama go* galinga ebiwayi by’enkomamawangaMu katimba ke weebikkiridde.   Ne bwe wabaawo bannaabakyala 60N’abazaana 80Era n’abawala abatabalika,+   Ejjiba lyange,+ ataliiko kamogo, ali omu yekka. Y’omu yekka owa nnyina. Y’asinga okuba omuganzi* eri oyo eyamuzaala. Abawala bamulaba ne bamwogerako ebirungi;Bannaabakyala n’abazaana bamulaba ne bamutendereza. 10  ‘Ani oyo ayakaayakana* ng’emmambya esala,Alabika obulungi ng’omwezi ogw’eggabogabo,Omulongoofu ng’omusana,Awuniikiriza ng’amagye ageetoolodde bbendera zaago?’”+ 11  “Nnaserengeta mu nnimiro y’emiti egy’ebibala,+Okulaba emitunsi ku miti egiri mu kiwonvu,*Okulaba obanga emizabbibu gireese emitunsi,Okulaba obanga emiti gy’enkomamawanga gimulisizza. 12  Olw’okwagala okulaba ebintu ebyo,Nneesanga ntuuse awaaliAmagaali g’abantu bange ab’emitima emirungi.” 13  “Komawo, komawo, omuwala Omusulamu! Komawo, komawo,Tukutunuulire!” “Lwaki mutunuulira omuwala Omusulamu?”+ “Alinga amazina ga Makanayimu!”*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ng’Ekibuga Ekisanyusa.”
Oba, “Emba zo.”
Obut., “Ye mulongoofu.”
Obut., “ayima waggulu n’atunula wansi.”
Laba Awanny.
Oba, “g’ebibinja ebibiri.”