Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Oluyimba lwa Sulemaani 4:1-16

EBIRIMU

  • Omusumba (1-5)

    • “Olabika bulungi, omwagalwa wange” (1)

  • Omuwala (6)

  • Omusumba (7-16a)

    • ”Mugole wange, otutte omutima gwange” (9)

  • Omuwala (16b)

4  “Ng’olabika bulungi, omwagalwa wange! Ng’olabika bulungi! Amaaso go galinga ag’ejjiba mu katimba ke weebikkiridde. Enviiri zo ziringa ekisibo ky’embuziEzikkirira ensozi za Gireyaadi.+   Amannyo go galinga ekisibo ky’endiga ezaakasalibwako ebyoya,Ezaakamala okunaazibwa,Nga zonna zaazaala balongo,Era nga tewali n’emu ebuliddwako mwana gwayo.   Emimwa gyo giringa akawuzi akamyufu,Era by’oyogera bisanyusa. Amatama go* galinga enkomamawanga esaliddwamu ebitundu bibiriMu katimba ke weebikkiridde.   Ensingo yo+ eringa omunaala gwa Dawudi,+Ogwazimbibwa n’amayinja agaateekebwa mu nnyiriri,Oguwanikiddwako engabo lukumi,Engabo zonna enneetooloovu ez’abasajja ab’amaanyi.+   Amabeere go gombi galinga enjaza ento,Abaana b’enjaza abalongo,+Abaliira mu malanga.”   “Ng’empewo y’emisana tennatandika kukunta, era nga n’ebisiikirize tebinnaggwaawo,Nja kugenda ku lusozi lwa miiraNe ku kasozi k’obubaani obweru.”+   “Omwagalwa wange, olabika bulungi wenna,+Toliiko kamogo.   Jjangu tuve ku Lebanooni mugole wange,Jjangu tuve ku Lebanooni.+ Va ku ntikko y’Olusozi Amaani* okkirireVa ku ntikko y’Olusozi Seniri, entikko y’Olusozi Kerumooni,+Va empologoma we zisula, va ku lusozi lw’engo.   Mwannyinaze, mugole wange, otutte omutima gwange,+Omukuufu gwo n’eriiso ly’ontunuulizza,Bitutte omutima gwange. 10  Mwannyinaze, mugole wange, omukwano gw’olaga+ nga musuffu! Omukwano gw’olaga gusingira wala omwenge,+N’akawoowo ko kawunya bulungi okusinga eby’akaloosa ebirala byonna!+ 11  Mugole wange, emimwa gyo gitonnya omubisi ogw’omu bisenge by’omubisi gw’enjuki.+ Omubisi gw’enjuki n’amata biri wansi w’olulimi lwo,+N’akawoowo akava mu ngoye zo kalinga akawoowo k’e Lebanooni. 12  Mwannyinaze, era omugole wange, alinga ennimiro okuli olukomera,Alinga ennimiro okuli olukomera, alinga ensulo enzibikire. 13  Amatabi go* nnimiro ya nkomamawanga,Omuli ebibala ebirungi ennyo, ebimera bya koferi n’ebimera bya nerada, 14  Ebimera ebiwunya akaloosa,+N’emiti gy’obubaani obweru egya buli ngeri, miira ne alowe,+N’eby’akaloosa byonna ebisingirayo ddala obulungi.+ 15  Oli nsulo ey’omu nnimiro, oli luzzi olw’amazzi amalungi,Era oli migga egikulukuta okuva e Lebanooni.+ 16  Ggwe empewo ey’ebukiikakkono, zuukuka;Ggwe empewo ey’ebukiikaddyo, yingira. Mukuntire* ku nnimiro yange. Akawoowo kaamu ka kasaasaane.” “Omwagalwa wange k’ajje mu nnimiro yeAlye ebibala byamu ebisinga obulungi.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Emba zo.”
Oba, “y’Olusozi Olutunudde mu Lusozi Lebanooni.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Olususu lwo.”
Oba, “Mufuuwe mpolampola.”