Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Olubereberye 42:1-38

EBIRIMU

  • Baganda ba Yusufu bagenda e Misiri (1-4)

  • Yusufu agezesa baganda be (5-25)

  • Baganda ba Yusufu baddayo eka eri Yakobo (26-38)

42  Yakobo bwe yakitegeera nti e Misiri eriyo emmere,*+ n’agamba batabani be nti: “Lwaki mudda awo buli omu okutunuulira munne?”  Era n’abagamba nti: “Mpulidde nti e Misiri eriyo emmere, mugende mutugulire emmere eneetubeesaawo tuleme okufa.”+  Awo baganda ba Yusufu kkumi+ ne bagenda e Misiri okugula emmere.  Naye Yakobo teyasindika Benyamini+ muganda wa Yusufu kugenda na baganda be, kubanga yagamba nti: “Si kulwa ng’afuna akabenje n’afa.”+  Awo batabani ba Isirayiri ne bagendera wamu n’abalala abaali bagenda okugula emmere, kubanga enjala yali etuuse ne mu nsi ya Kanani.+  Yusufu ye yalina obuyinza ku nsi ya Misiri,+ era abantu bonna abaavanga wonna mu nsi ye yabaguzanga emmere.+ Awo baganda ba Yusufu ne bajja ne bamuvunnamira, obwenyi bwabwe ne butuukira ddala ku ttaka.+  Yusufu bwe yalaba baganda be, yabategeererawo, naye ne yeefuula ne batayinza kumutegeera.+ N’ayogera nabo n’obukambwe n’abagamba nti: “Muvudde wa?” Ne bamuddamu nti: “Tuvudde mu nsi ya Kanani era tuzze kugula mmere.”+  Bw’atyo Yusufu n’ategeera baganda be naye bo tebaamutegeera.  Amangu ago n’ajjukira ebirooto ebibakwatako bye yaloota,+ n’abagamba nti: “Muli bakessi! Muzze okulaba awali obunafu bw’ensi yaffe!” 10  Ne bamugamba nti: “Nedda mukama waffe, abaweereza bo bazze kugula mmere. 11  Ffenna tuli baana ba musajja omu. Tuli bantu ba mazima. Abaweereza bo si bakessi.” 12  Naye n’abagamba nti: “Nedda! Muzze okulaba awali obunafu bw’ensi yaffe!” 13  Ne bamuddamu nti: “Abaweereza bo bali ab’oluganda 12.+ Tuli baana ba musajja omu+ mu nsi ya Kanani; asembayo obuto ali ne kitaffe kaakano,+ ate omulala takyaliwo.”+ 14  Naye Yusufu n’abagamba nti: “Kye mbagambye ky’ekyo, ‘Muli bakessi!’ 15  Mugenda kugezesebwa bwe muti: Nga Falaawo bw’ali omulamu, temujja kuva wano okutuusa nga muganda wammwe asembayo obuto azze wano.+ 16  Mutume omu ku mmwe aleete muganda wammwe, abalala musigale nga musibiddwa, ebigambo byammwe bisobole okukakasibwa obanga bya mazima. Bwe kitaba bwe kityo, nga Falaawo bw’ali omulamu, muli bakessi.” 17  Awo bonna n’abaggalira okumala ennaku ssatu. 18  Ku lunaku olw’okusatu Yusufu n’abagamba nti: “Ntya Katonda. Kale mukole bwe muti musobole okusigala nga muli balamu. 19  Bwe muba nga muli ba mazima, omu ku baganda bammwe asigale ng’asibiddwa mu nnyumba eno mwe musibiddwa, mmwe abalala muyinza okugenda ne mutwala emmere, ab’omu maka gammwe baleme okufa enjala.+ 20  Era oluvannyuma bwe munandeetera muganda wammwe asembayo obuto, kijja kukakasibwa nti ebigambo byammwe bya mazima, era temujja kufa.” Ne bakola bwe batyo. 21  Ne batandika okugambagana nti: “Mazima ddala kino kibonerezo olw’ekyo kye twakola muganda waffe,+ kubanga twalaba ennaku ey’amaanyi gye yalimu bwe yatwegayirira tumusaasire naye ne tutawuliriza. Eyo ye nsonga lwaki emitawaana gino gitujjidde.” 22  Awo Lewubeeni n’abagamba nti: “Saabagamba nti, ‘Temukola kibi ku mwana oyo,’ naye ne mutawuliriza?+ Kaakano omusaayi gwe gutulondoola.”+ 23  Naye bo tebaamanya nti Yusufu yali ategeera bye boogera kubanga baayogeranga naye nga waliwo avvuunula. 24  Awo Yusufu n’ava we baali n’atandika okukaaba.+ Bwe yakomawo n’ayogera nabo nate, n’atwala Simiyoni+ n’amusiba nga balaba.+ 25  Yusufu n’alagira bajjuze ensawo zaabwe emmere, bazze ssente za buli omu mu nsawo ye, era babawe n’emmere ey’okulya ku lugendo. Ekyo ne kibakolerwa. 26  Awo ne batikka emmere yaabwe ku ndogoyi zaabwe ne bavaayo ne bagenda. 27  Omu bwe yasumulula ensawo ye okuwa endogoyi ye eby’okulya mu kifo we baasula, n’alaba ssente ze nga ziri mu mumwa gw’ensawo ye. 28  Awo n’agamba baganda be nti: “Ssente zange baazinzirizza era ziizino mu nsawo yange!” Emitima ne gibatyemuka ne bakankana, ne bagambagana nti: “Kiki kino Katonda ky’atukoze?” 29  Bwe baatuuka eri Yakobo kitaabwe mu nsi ya Kanani ne bamubuulira byonna ebyabatuukako nga bagamba nti: 30  “Omusajja alina obuyinza ku nsi eyo yayogera naffe mu ngeri ey’obukambwe+ n’atulumiriza nti tuketta nsi. 31  Naye twamugamba nti, ‘Tuli bantu ba mazima, tetuli bakessi.+ 32  Tuli ab’oluganda 12,+ era kitaffe y’omu. Naye omu takyaliwo,+ ate asembayo obuto kaakano ali ne kitaffe mu nsi ya Kanani.’+ 33  Naye omusajja alina obuyinza ku nsi eyo yatugamba nti, ‘Ku kino kwe nnaategeerera nti muli ba mazima: Omu ku baganda bammwe mumuleke asigale nange,+ mmwe mutwale emmere olw’enjala eri mu maka gammwe.+ 34  Mundeetere muganda wammwe asembayo obuto ndyoke ntegeere nti temuli bakessi, wabula nti muli ba mazima. Awo nja kubaddiza muganda wammwe era mujja kusuubuliranga mu nsi eno.’” 35  Awo bwe baali baggya ebintu mu nsawo zaabwe, buli omu n’asanga akasawo ke aka ssente mu nsawo ye, era bo ne kitaabwe bwe baalaba obusawo obwo ne batya. 36  Awo Yakobo n’abagamba nti: “Munzigyeeko abaana bange!+ Yusufu takyaliwo+ ne Simiyoni takyaliwo,+ ate ne Benyamini mugenda kumutwala! Bino byonna bijjidde nze!” 37  Naye Lewubeeni n’agamba kitaawe nti: “Bwe sirikomyawo Benyamini gy’oli,+ batabani bange bombi obattanga. Munkwase, era nja kumukomyawo gy’oli.”+ 38  Kyokka ye n’agamba nti: “Omwana wange tajja kugenda nammwe, kubanga muganda we yafa era yasigala yekka.+ Singa afuna akabenje nga muli ku lugendo n’afa, mazima ddala mulindeetera okukkirira emagombe*+ mu bukadde bwange nga ndi munakuwavu.”+

Obugambo Obuli Wansi

Eŋŋaano oba ssayiri.
Laba Awanny.