Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Olubereberye 38:1-30

EBIRIMU

  • Yuda ne Tamali (1-30)

38  Awo mu kiseera ekyo Yuda n’ava awaali baganda be n’agenda n’asimba weema ye okuliraana ew’omusajja Omwadulamu ayitibwa Kiira.  Yuda n’alaba eyo omuwala w’Omukanani.+ Omukanani oyo yali ayitibwa Suwa. N’amutwala n’amuwasa ne yeegatta naye,  n’aba olubuto, era oluvannyuma n’azaala omwana ow’obulenzi, Yuda n’amutuuma Eli.+  Omukazi n’aba olubuto nate n’azaala omwana ow’obulenzi omulala n’amutuuma Onani.  Era nate n’azaala omwana ow’obulenzi omulala n’amutuuma Seera. Mu kiseera mukyala we we yazaalira omwana oyo baali babeera Akuzibu.+  Oluvannyuma Yuda n’awasiza Eli mutabani we omubereberye omukazi ayitibwa Tamali.+  Naye Eli mutabani wa Yuda omubereberye yakolanga ebinyiiza Yakuwa, bw’atyo Yakuwa n’amutta.  Ekyo bwe kyabaawo, Yuda n’agamba Onani nti: “Wasa muka muganda wo otuukirize ekyo muganda wa bba ky’asaanidde okukola, ofunire muganda wo ezzadde.”+  Naye Onani yamanya nti omwana teyanditwaliddwa kuba wuwe;+ bw’atyo bwe yeegatta ne muka muganda we amazzi yagafuka wansi aleme okuzaalira muganda we omwana.+ 10  Kye yakola kyali kibi mu maaso ga Yakuwa, bw’atyo naye n’amutta.+ 11  Yuda n’agamba Tamali muka mwana we nti: “Sigala ng’oli nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo okutuusa nga mutabani wange Seera akuze.” Kubanga muli yalowooza nti: ‘Naye ayinza okufa nga baganda be.’+ Awo Tamali n’agenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe. 12  Bwe waayitawo ekiseera muwala wa Suwa,+ muka Yuda, n’afa. Yuda bwe yamalako ekiseera eky’okukungubaga n’ayambuka e Timuna+ awaali abasazi b’ebyoya by’endiga ze ng’ali wamu ne mukwano gwe Kiira Omwadulamu.+ 13  Ne babuulira Tamali nti: “Laba, ssezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze.” 14  Awo ne yeeyambulamu ebyambalo eby’obwannamwandu, n’asiba ekitambaala ku mutwe ne kimubikka ne mu maaso era ne yeebikkirira olugoye n’atuula ku mulyango gwa Enayimu ekiri ku luguudo olugenda e Timuna, kubanga yalaba nga Seera yali akuze naye ne batamumuwa kumufumbirwa.+ 15  Yuda bwe yamulaba n’alowooza nti malaaya, olw’okuba yali yeebisse mu maaso. 16  N’akyama we yali ku mabbali g’oluguudo n’amugamba nti: “Nkusaba onzikirize nneegatte naawe.” Yali tamanyi nti ye muka mwana we.+ Kyokka ye n’amuddamu nti: “Onompa ki olyoke weegatte nange?” 17  N’amugamba nti: “Nja kukuweereza omwana gw’embuzi okuva mu kisibo kyange.” Naye n’amugamba nti: “Onondekera omusingo okutuusa lw’onooguweereza?” 18  N’amuddamu nti: “Kiki kye mba nkusingira?” N’amugamba nti: “Empeta yo eramba,+ n’akaguwa kaayo, n’omuggo gwo oguli mu ngalo zo.” Awo n’abimuwa ne yeegatta naye n’amufunyisa olubuto. 19  Ebyo bwe byaggwa omukazi n’agenda ne yeggyako ekitambaala, n’ayambala ebyambalo bye eby’obwannamwandu. 20  Yuda n’atuma mukwano gwe Omwadulamu+ okutwalayo omwana gw’embuzi omukazi asobole okumuddiza omusingo, naye n’atamusangawo. 21  N’abuuza abasajja b’omu kitundu ekyo nti: “Malaaya* eyabeeranga mu Enayimu ku mabbali g’oluguudo ali ludda wa?” Ne bamuddamu nti: “Mu kifo kino temubangamu malaaya.” 22  Oluvannyuma n’addayo eri Yuda n’amugamba nti: “Simulabye, era n’abasajja b’omu kitundu bagambye nti: ‘Mu kifo kino temubangamu malaaya.’” 23  Yuda n’amugamba nti: “K’abitwale tuleme kuweebuuka. Kasita nnaweerezza omwana gw’embuzi naye n’otomusangayo.” 24  Bwe waayitawo emyezi ng’esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamali muka mwana wo yakola obwamalaaya era yafuna olubuto mu bwamalaaya.” Awo Yuda n’agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe.”+ 25  Bwe baali bamufulumya n’aweereza obubaka eri ssezaala we, n’amugamba nti: “Omusajja nnannyini bino ye yanfunyisa olubuto.” Era n’ayongerako nti: “Nkwegayiridde kebera olabe nnannyini mpeta eramba, n’akaguwa kaayo, n’omuggo.”+ 26  Yuda n’abikebera n’agamba nti: “Mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.”+ Yuda teyaddamu kwegatta naye mulundi mulala. 27  Awo ekiseera kye eky’okuzaala bwe kyatuuka, mu lubuto lwe mwalimu balongo. 28  Bwe yali azaala, omu n’afulumya omukono gwe, amangu ago omuzaalisa n’addira akawuzi akamyufu n’akasiba ku mukono gwe ng’agamba nti: “Ono y’asoose okufuluma.” 29  Naye olwali okuzzaayo omukono gwe muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti: “Bw’otyo bw’owaguzza?” Kyeyava atuumibwa Pereezi.*+ 30  Oluvannyuma muganda we gwe baasiba akawuzi akamyufu ku mukono naye n’afuluma, era n’atuumibwa Zeera.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “malaaya w’omu yeekaalu.”
Litegeeza, “Okuyuza,” oboolyawo okuyuza ebitundu eby’ekyama.