Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Olubereberye 27:1-46

EBIRIMU

  • Isaaka awa Yakobo emikisa (1-29)

  • Esawu ayagala okufuna emikisa naye teyeenenya (30-40)

  • Esawu akyawa Yakobo (41-46)

27  Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye era ng’amaaso ge gayimbadde, n’ayita Esawu+ mutabani we omukulu n’amugamba nti: “Mwana wange!” N’amuddamu nti: “Nzuuno!”  N’amugamba nti: “Laba, nkaddiye era simanyi lunaku lwe ndifiirako.  Kale kaakano twala ebintu by’oyiggisa, ensawo yo ey’obusaale n’omutego gwo, ogende ku ttale onjiggire ensolo,+  onfumbire ennyama ewooma gye njagala ogindeetere, ngirye ndyoke nkuwe omukisa nga sinnafa.”  Naye Lebbeeka yali awulira nga Isaaka ayogera ne mutabani we Esawu. Esawu n’agenda ku ttale okuyigga ensolo agireete.+  Lebbeeka n’agamba Yakobo mutabani we+ nti: “Mpulidde kitaawo ng’agamba Esawu muganda wo nti,  ‘Njiggira ensolo onfumbire ennyama ewooma ngirye, ndyoke nkuwe omukisa mu maaso ga Yakuwa nga sinnafa.’+  Kale kaakano mwana wange wuliriza n’obwegendereza okole kye nkulagira.+  Genda mu kisibo ondeetere embuzi ento bbiri ku ezo ezisingayo obulungi nfumbiremu kitaawo ennyama ewooma, ngifumbe nga bw’agyagala, 10  oluvannyuma ogitwalire kitaawo alye alyoke akuwe omukisa nga tannafa.” 11  Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti: “Esawu muganda wange alina ebyoya bingi+ naye nze olususu lwange luweweevu. 12  Watya singa kitange ankwatako?+ Awatali kubuusabuusa nja kulabika ng’amuzannyisa, bwe ntyo nneereeteko ekikolimo mu kifo ky’omukisa.” 13  Nnyina n’amugamba nti: “Ekikolimo ekyandibadde ku ggwe kidde ku nze mwana wange, naye ggwe kola nga bwe nkugambye, ogende ozindeetere.”+ 14  Awo n’agenda n’azireetera nnyina, era nnyina n’afumba ennyama ewooma nga kitaawe bwe yagyagalanga. 15  Ebyo bwe byaggwa, Lebbeeka n’addira ebyambalo bya Esawu mutabani we omukulu ebisingayo obulungi bye yalina mu nnyumba, n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto.+ 16  N’ateeka amaliba g’embuzi ento ku mikono gye ne ku nsingo ye awataali byoya.+ 17  N’akwasa mutabani we Yakobo ennyama n’emmere bye yali afumbye.+ 18  Yakobo n’agenda eri kitaawe n’amugamba nti: “Taata!” N’amuddamu nti: “Wangi! Ggwe ani mwana wange?” 19  Yakobo n’agamba kitaawe nti: “Nze Esawu omwana wo omubereberye.+ Nkoze nga bwe waŋŋambye. Golokoka otuule olye ku nnyama y’ensolo gye njizze olyoke ompe omukisa.”+ 20  Awo Isaaka n’agamba mutabani we nti: “Osobodde otya okugifuna amangu bw’otyo mwana wange?” N’amuddamu nti: “Yakuwa Katonda wo yagireese gye ndi.” 21  Isaaka n’agamba Yakobo nti: “Sembera wano nkukwateko mwana wange mmanye obanga ddala ggwe mwana wange Esawu.”+ 22  Awo Yakobo n’asembera, Isaaka kitaawe n’amukwatako, oluvannyuma n’agamba nti: “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.”+ 23  N’atamutegeera kubanga emikono gye gyaliko ebyoya bingi ng’emikono gya Esawu muganda we, bw’atyo n’amuwa omukisa.+ 24  Awo n’amubuuza nti: “Ddala ggwe mwana wange Esawu?” N’amuddamu nti: “Ye nze.” 25  N’amugamba nti: “Leeta ku muyiggo ndye mwana wange ndyoke nkuwe omukisa.” Awo n’agitwala we yali n’alya, n’amutwalira n’omwenge n’anywa. 26  Isaaka kitaawe n’amugamba nti: “Sembera wano onnywegere mwana wange.”+ 27  Bw’atyo n’asembera n’amunywegera, n’awunyirwa akawoowo k’ebyambalo bye,+ n’amuwa omukisa ng’agamba nti: “Laba, akawoowo k’omwana wange kalinga akawoowo k’ettale Yakuwa ly’awadde omukisa. 28  Katonda ow’amazima akuwe omusulo oguva mu ggulu,+ n’ettaka ly’ensi eggimu,+ n’emmere* nnyingi, n’omwenge omusu.+ 29  Abantu bakuweerezenga, n’amawanga gakuvunnamirenga. Ofugenga baganda bo era abaana ba nnyoko bakuvunnamirenga.+ Buli anaakukolimiranga akolimirwenga, na buli anaakuwanga omukisa aweebwenga omukisa.”+ 30  Awo Isaaka bwe yali yaakamaliriza okuwa Yakobo omukisa era nga Yakobo yaakava mu maaso ga Isaaka kitaawe, Esawu muganda we n’akomawo okuva okuyigga.+ 31  Naye n’afumba ennyama ewooma n’agireetera kitaawe n’amugamba nti: “Taata, situka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke ompe omukisa.” 32  Awo kitaawe Isaaka n’amugamba nti: “Ggwe ani?” N’amuddamu nti: “Nze Esawu mutabani wo omubereberye.”+ 33  Awo Isaaka n’atandika okukankana ennyo era n’agamba nti: “Kale ani eyayizze ensolo n’agindeetera? Ngiridde nga tonnajja ne mmuwa omukisa; era ddala aligufuna!” 34  Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe n’akaaba mu ddoboozi erya waggulu era ery’ennaku, n’agamba kitaawe nti: “Taata, nange mpa omukisa!”+ 35  Naye n’amuddamu nti: “Muganda wo yazze n’alimba asobole okutwala omukisa ogubadde ogugwo.” 36  Awo n’agamba nti: “Eyo si ye nsonga lwaki ayitibwa Yakobo?* Kubanga kati emirundi ebiri ng’atwala ekifo kyange.+ Yatwala omugabo gwange ogw’omwana omubereberye+ ate kati atutte n’omukisa gwange!”+ Awo n’agattako nti: “Tonterekeddeeyo mukisa mulala gwonna?” 37  Naye Isaaka n’addamu Esawu nti: “Mmufudde mukama wo+ era baganda be bonna mbamuwadde okuba abaweereza be, era mmuwadde emmere n’omwenge omusu okumubeesaawo;+ kaIe wasigaddewo ki kye nnyinza okukukolera mwana wange?” 38  Awo Esawu n’agamba kitaawe nti: “Olina omukisa gumu gwokka taata? Taata, nange mpa omukisa!” Awo Esawu n’atandika okutema emiranga.+ 39  Isaaka kitaawe n’amugamba nti: “Laba, toobeerenga mu nsi ngimu era toofunenga musulo oguva mu ggulu.+ 40  Oneeyimirizangawo na kitala kyo+ era onooweerezanga muganda wo.+ Naye emirembe bwe giryeyongera okukuggwaako, olyeggyako ekikoligo kye ku nsingo yo.”+ 41  Kyokka, Esawu n’asibira Yakobo ekiruyi olw’omukisa kitaawe gwe yamuwa,+ era Esawu n’agambanga mu mutima gwe nti: “Ennaku z’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka.+ Bwe zinaggwaako nja kutta muganda wange Yakobo.” 42  Lebbeeka bwe yategeezebwa ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu, amangu ago n’atumya Yakobo mutabani we omuto n’amugamba nti: “Laba! Esawu muganda wo ateekateeka kuwoolera ggwanga akutte. 43  Kale nno mwana wange kola kye nkugamba; situka oddukire e Kalani ewa Labbaani mwannyinaze,+ 44  obeere eyo naye okumala ekiseera, okutuusa obusungu bwa muganda wo lwe bulikkakkana 45  n’aba nga takyalina kiruyi gy’oli, era nga yeerabidde kye wamukola. Olwo ndikutumya n’ovaayo. Lwaki mbafiirwa mmwembi ku lunaku lumu?” 46  Awo, Lebbeeka n’agambanga Isaaka nti: “Obulamu buntamye olwa bawala ba Keesi.+ Yakobo bw’aliwasa ku bawala ba Keesi, nga bano ab’omu nsi eno, olwo obulamu buliba bungasa ki?”+

Obugambo Obuli Wansi

Eŋŋaano oba ssayiri.
Litegeeza, “Anyweza Ekisinziiro; Atwala Ekifo ky’Omulala.”