Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Olubereberye 23:1-20

EBIRIMU

  • Okufa kwa Saala n’ekifo w’aziikibwa (1-20)

23  Saala yawangaala emyaka 127.+  Saala n’afiira mu Kiriyasu-aluba,+ kwe kugamba, e Kebbulooni+ mu nsi ya Kanani,+ era Ibulayimu n’akungubagira Saala era n’amukaabira.  Ibulayimu n’asituka n’ava awaali omulambo gwa mukazi we n’agamba abaana ba Keesi+ nti:  “Ndi mugwira era musenze mu mmwe;+ munguze ekifo mu mmwe eky’okuziikangamu, nzigyewo omuntu wange afudde mmuziike.”  Abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu nti:  “Mukama waffe, wulira kye tugamba. Tulaba nti oli mukungu eyalondebwa Katonda.*+ Ziika omuntu wo mu kifo ekisingayo obulungi mu ebyo bye tuziikamu. Tewali n’omu ku ffe ajja kukumma kifo kya kuziikamu muntu wo.”  Awo Ibulayimu n’ayimuka n’avunnamira bannansi, abaana ba Keesi,+  n’abagamba nti: “Bwe muba nga munzikiriza okuziika omuntu wange, mumpulirize munneegayiririre Efulooni mutabani wa Zokali  anguze empuku ye ey’e Makupeera eri ku nkomerero y’ekibanja kye. Aginguze nga weemuli ku muwendo gwa ffeeza omujjuvu+ nsobole okufuna ekifo eky’okuziikangamu.”+ 10  Efulooni yali atudde mu baana ba Keesi. Bw’atyo Efulooni Omukiiti n’addamu Ibulayimu ng’abaana ba Keesi bawulira, ne mu maaso g’abo bonna abaayingira mu mulyango gw’ekibuga,+ n’agamba nti: 11  “Nedda mukama wange! Mpuliriza. Ekibanja nkikuwadde era n’empuku erimu ngikuwadde. Mbikuweeredde mu maaso g’abaana b’abantu bange, oziikemu omuntu wo.” 12  Awo Ibulayimu n’avunnama mu maaso ga bannansi, 13  n’agamba Efulooni ng’abantu bawulira nti: “Mpuliriza! Nja kukuwa omuwendo gwa ffeeza omujjuvu ogw’ekibanja; gukkirize nziikemu omuntu wange.” 14  Awo Efulooni n’addamu Ibulayimu nti: 15  “Mukama wange mpuliriza. Ekibanja kino kya sekeri* za ffeeza 400, naye ekyo si kikulu gye ndi ne gy’oli. Kale ziika omuntu wo.” 16  Awo Ibulayimu n’awuliriza Efulooni, n’apimira Efulooni omuwendo gwa ffeeza gwe yali ayogedde ng’abaana ba Keesi bawulira, kwe kugamba, sekeri* za ffeeza 400 okusinziira ku kipimo ekyali kikkirizibwa abasuubuzi.+ 17  Bwe kityo ne kikakasibwa nti ekibanja kya Efulooni eky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule—ekibanja n’empuku, n’emiti gyonna egyakirimu 18  Ibulayimu ye yabigula mu maaso g’abaana ba Keesi, mu maaso g’abo bonna abaali bayingira mu mulyango gw’ekibuga kye. 19  Ebyo bwe byaggwa, Ibulayimu n’aziika mukazi we Saala mu mpuku eri mu kibanja eky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule, kwe kugamba, mu Kebbulooni mu nsi ya Kanani. 20  Bwe kityo abaana ba Keesi ne bawa Ibulayimu ekibanja n’empuku eyakirimu okuba ekifo eky’okuziikangamu.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “oli mukungu mukulu.”
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.