Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Olubereberye 18:1-33

EBIRIMU

  • Bamalayika basatu bakyalira Ibulayimu (1-8)

  • Saala asuubizibwa okuzaala omwana ow’obulenzi; aseka (9-15)

  • Ibulayimu yeegayirira ku lwa Sodomu (16-33)

18  Oluvannyuma Yakuwa+ n’amulabikira okumpi n’emiti eminene egy’e Mamule+ bwe yali ng’atudde ku mulyango gwa weema mu ttuntu.  Bwe yayimusa amaaso n’alaba abasajja basatu nga bayimiridde, nga beesudde akabanga okuva we yali.+ Bwe yabalaba n’ava ku mulyango gwa weema n’adduka okubasisinkana, era n’avunnama wansi.  Awo n’agamba nti: “Yakuwa, bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde toyita ku muweereza wo.  Ka baleete amazzi ebigere byammwe binaazibwe,+ oluvannyuma muwummulireko wansi w’omuti.  Kale nga bwe muzze wano ew’omuweereza wammwe, ka ndeete emmere mulye,* bwe munaamala mweyongereyo.” Awo ne bagamba nti: “Kale, kola nga bw’ogambye.”  Awo Ibulayimu n’ayanguwa n’agenda mu weema eri Saala n’amugamba nti: “Yanguwa ofune ebigera* bisatu eby’obuwunga obulungi ennyo, obukande ofumbe emigaati.”  Ibulayimu n’adduka mbiro mu kiraalo n’aggyayo ente ento ennume enyirira n’agiwa omuweereza, n’ayanguwa okugenda okugifumba.  Ibulayimu n’addira omuzigo n’amata n’ennyama gye yali afumbye n’abiteeka mu maaso gaabwe. N’ayimirira ku mabbali wansi w’omuti nga bo bwe balya.+  Awo ne bamubuuza nti: “Mukazi wo Saala ali ludda wa?”+ N’abaddamu nti: “Ali awo mu weema.” 10  Omu ku bo n’amugamba nti: “Nja kukomawo gy’oli omwaka ogujja mu kiseera nga kino, era laba! Saala mukazi wo ajja kuba alina omwana ow’obulenzi.”+ Saala yali ku mulyango gwa weema ng’awuliriza, era weema yali mabega wa musajja. 11  Ibulayimu ne Saala baali bakuze nga bakaddiye nnyo.+ Saala yali ayisizza mu myaka egy’okuzaala.+ 12  Awo Saala n’atandika okuseka mu mutima gwe ng’agamba nti: “Nnaafuna essanyu lino nga nkaddiye bwe nti, era nga ne mukama wange akaddiye?”+ 13  Awo Yakuwa n’agamba Ibulayimu nti: “Lwaki Saala asese n’agamba nti, ‘Ddala nnaazaala omwana nga nkaddiye bwe nti?’ 14  Waliwo ekitasoboka eri Yakuwa?+ Nja kukomawo gy’oli mu kiseera kye kimu omwaka ogujja, era Saala ajja kuba alina omwana ow’obulenzi.” 15  Naye Saala ne yeegaana ng’agamba nti: “Sisese,” kubanga yatya. N’amugamba nti: “Osese.” 16  Abasajja bwe baasituka okugenda, ne batunula e Sodomu,+ era Ibulayimu yali atambula nabo ng’abawerekerako. 17  Yakuwa n’agamba nti: “Nnaakisa Ibulayimu kye ŋŋenda okukola?+ 18  Ibulayimu agenda kufuuka eggwanga eddene era ery’amaanyi, era okuyitira mu ye amawanga gonna ag’oku nsi galiweebwa omukisa.*+ 19  Kyenvudde mmumanya asobole okulagira abaana be n’ab’ennyumba ye abalimuddirira okukwata ekkubo lya Yakuwa nga bakola eby’obutuukirivu n’eby’obwenkanya,+ Yakuwa alyoke awe Ibulayimu byonna bye yamusuubiza.” 20  Awo Yakuwa n’agamba nti: “Okwemulugunya ku Sodomu ne Ggomola kwa maanyi nnyo,+ n’ekibi kyabwe kinene nnyo.+ 21  Nja kugendayo ndabe obanga ddala bakola ng’okwemulugunya okutuuse gye ndi bwe kuli. Bwe kinaaba nga si bwe kiri, nakyo nja kukimanya.”+ 22  Awo abasajja ne bava eyo ne boolekera Sodomu, naye Yakuwa+ n’asigala ne Ibulayimu. 23  Ibulayimu n’asembera n’agamba nti: “Ddala onoozikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?+ 24  Mu kibuga bwe muba mulimu abatuukirivu 50, onoozikiriza ekibuga kyonna n’otakisonyiwa ku lw’abatuukirivu 50 abakirimu? 25  Mazima ddala toyinza kukola bw’otyo, otte abatuukirivu awamu n’ababi, abatuukirivu n’ababi batuukibweko ekintu kye kimu!+ Toyinza kukola bw’otyo.+ Omulamuzi w’ensi yonna taakole kituufu?”+ 26  Awo Yakuwa n’amugamba nti: “Mu Sodomu bwe nnaasangamu abatuukirivu 50, nja kusonyiwa ekibuga kyonna ku lwabwe.” 27  Naye Ibulayimu era n’amuddamu nti: “Nneetantadde okwogera ne Yakuwa wadde nga ndi nfuufu era vvu. 28  Ku batuukirivu 50 bwe kunaaba kubulako bataano, onoozikiriza ekibuga kyonna olw’abataano ababulako?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza bwe nnaasangamu abatuukirivu 45.”+ 29  Ibulayimu n’addamu n’amugamba nti: “Ate bwe munaabaamu 40?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo 40.” 30  Naye n’ayongera n’agamba nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, tosunguwala,+ ka nneeyongere okwogera: Bwe munaabaamu 30?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza singa nsangamu 30.” 31  N’ayongera n’agamba nti: “Nneetantadde okwogera ne Yakuwa: Bwe munaabaamu 20?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo 20.” 32  Ku nkomerero n’agamba nti: “Nkwegayiridde Yakuwa, tosunguwala, ka njogere omulundi omulala gumu: Singa musangibwamu kkumi bokka?” N’amuddamu nti: “Sijja kukizikiriza ku lw’abo ekkumi.” 33  Yakuwa bwe yamala okwogera ne Ibulayimu, n’agenda,+ Ibulayimu naye n’addayo ewuwe.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “muzzeemu emitima gyammwe amaanyi.”
Obut., “ebigera bya seya.” Seya yali egyaamu lita 7.33. Laba Ebyong. B14.
Oba, “galyefunira omukisa.”