Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Olubereberye 16:1-16

EBIRIMU

  • Agali ne Isimayiri (1-16)

16  Salaayi mukazi wa Ibulaamu yali tamuzaalidde mwana;+ naye yalina omuweereza we Omumisiri ayitibwa Agali.+  Awo Salaayi n’agamba Ibulaamu nti: “Yakuwa anziyizza okuzaala abaana. Nkusaba weegatte n’omuzaana wange, oboolyawo nnaafuna abaana okuyitira mu ye.”+ Ibulaamu n’awuliriza Salaayi kye yamugamba.  Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali omuweereza we Omumisiri, n’amumuwa okuba mukazi we.  Bw’atyo Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’afuna olubuto. Bwe yakimanya nti afunye olubuto n’atandika okunyooma mukama we.  Awo Salaayi n’agamba Ibulaamu nti: “Ggwe avunaanyizibwa ebibi ebinkolebwa. Nze nnakukwasa* omuweereza wange, naye bwe yakitegeera nti ali lubuto n’atandika okunnyooma. Yakuwa asalewo ani mutuufu ku nze naawe.”  Awo Ibulaamu n’agamba Salaayi nti: “Laba! Omuweereza wo omulinako obuyinza. Mukole ky’olaba nga kye kirungi.” Awo Salaayi n’atandika okumujolonga, n’ekyavaamu n’amuddukako.  Oluvannyuma, malayika wa Yakuwa n’amusanga ku luzzi mu ddungu, oluzzi oluli ku kkubo erigenda e Ssuuli.+  N’amugamba nti: “Agali omuweereza wa Salaayi, ova wa era olaga wa?” N’amuddamu nti: “Nziruka mukama wange Salaayi.”  Malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Ddayo eri mukama wo weetoowaze mu maaso ge.” 10  Malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Nja kwaza nnyo ezzadde lyo, babeere bangi nga tebasobola kubalika.”+ 11  Malayika wa Yakuwa era n’amugamba nti: “Kaakano oli lubuto era ojja kuzaala omwana ow’obulenzi omutuume Isimayiri;* kubanga Yakuwa awulidde okubonaabona kwo. 12  Ajja kuba ng’endogoyi ey’omu nsiko. Anaalwanyisanga buli muntu era buli muntu anaamulwanyisanga. Anaabeeranga ku ludda olulala mu maaso ga baganda be bonna.”* 13  Awo n’akoowoola erinnya lya Yakuwa eyali ayogera naye, nagamba nti: “Ggwe Katonda alaba,”+ kubanga yagamba nti: “Ddala ntunudde ku oyo andaba?” 14  Eyo ye nsonga lwaki oluzzi olwo luyitibwa Beeri-lakayiroyi.* (Luli wakati wa Kadesi ne Beredi.) 15  Oluvannyuma Agali yazaalira Ibulaamu omwana ow’obulenzi, era omwana Agali gwe yazaala Ibulaamu yamutuuma Isimayiri.+ 16  Ibulaamu yali aweza emyaka 86 Agali we yazaalira Isimayiri.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Nze eyateeka mu kifuba kyo.”
Litegeeza, “Katonda awulira.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Aliba ku mbiranye ne baganda be bonna.”
Litegeeza “Oluzzi lw’Oyo Omulamu Andaba.”