Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Okuva 9:1-35

EBIRIMU

  • Ekibonyoobonyo 5: ebisolo bifa (1-7)

  • Ekibonyoobonyo 6: amayute ku bantu ne ku bisolo (8-12)

  • Ekibonyoobonyo 7: omuzira (13-35)

    • Falaawo wa kulaba amaanyi ga Katonda (16)

    • Erinnya lya Yakuwa lya kulangirirwa (16)

9  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Genda eri Falaawo omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Katonda w’Abebbulaniya bw’agamba: “Leka abantu bange bagende bampeereze.+  Naye bw’onoobagaana okugenda era n’obalemera,  laba, omukono gwa Yakuwa+ gujja kujja ku bisolo byo ebiri ku ttale. Embalaasi, endogoyi, eŋŋamira, ente, n’endiga, bijja kufuna obulwadde obw’amaanyi.+  Yakuwa ajja kulaga enjawulo wakati w‘ebisolo by’Abayisirayiri n’eby’Abamisiri, era tewali na kimu ku bisolo by’Abayisirayiri kijja kufa.”’”+  Ate era Yakuwa yassaawo ekiseera ekigereke ng’agamba nti: “Enkya Yakuwa ajja kukola kino mu nsi eno.”  Awo Yakuwa n’akola bw’atyo enkeera, ebisolo by’Abamisiri ebya buli kika ne bifa,+ naye tewali na kimu ku bisolo by’Abayisirayiri ekyafa.  Falaawo bwe yabuuliriza, yakizuula nti tewali na kimu ku bisolo by’Abayisirayiri ekyali kifudde. Kyokka omutima gwa Falaawo gweyongera okuba omukakanyavu n’ataleka bantu kugenda.+  Oluvannyuma lw’ebyo, Yakuwa yagamba Musa ne Alooni nti: “Mujjuze embatu zammwe omunyale ogw’omu kyokero, era Musa ajja kugumansa mu bbanga nga Falaawo alaba.  Gujja kufuuka nfuufu gubune mu nsi ya Misiri yonna, era gujja kufuuka amayute ku bantu ne ku bisolo mu nsi yonna eya Misiri.” 10  Awo ne batwala omunyale ogw’omu kyokero ne bayimirira mu maaso ga Falaawo, Musa n’agumansa mu bbanga ne gufuuka amayute ku bantu ne ku bisolo. 11  Bakabona abaakolanga eby’obufumu tebaayinza kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute agaabaliko, kubanga amayute gaali ku bakabona ne ku Bamisiri bonna.+ 12  Naye Yakuwa yaleka omutima gwa Falaawo okukakanyala, n’atabawuliriza, nga Yakuwa bwe yali agambye Musa.+ 13  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Golokoka enkya ku makya oyimirire mu maaso ga Falaawo omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Katonda w’Abebbulaniya bw’agamba: “Leka abantu bange bagende bampeereze. 14  Kubanga kaakano nkusindikira ggwe n’abaweereza bo, n’abantu bo, ebibonyoobonyo byange byonna, olyoke omanye nti tewali mulala alinga nze mu nsi yonna.+ 15  Nnandibadde nnagolola dda omukono gwange ne nkuleetera ggwe n’abantu bo ekirwadde, ne musaanawo mu nsi. 16  Naye nkulese ng’okyali mulamu nsobole okukulaga amaanyi gange, era n’erinnya lyange lisobole okulangirirwa mu nsi yonna.+ 17  N’okutuusa kaakano okyekulumbalizza ku bantu bange ng’obagaana okugenda? 18  Mu kiseera nga kino enkya, nja kutonnyesa omuzira ogw’amaanyi ennyo, ogutabangawo mu Misiri kasookedde ebaawo. 19  Kale kaakano lagira bayingize ebisolo byo byonna n’ebintu byo byonna ebiri ku ttale. Omuzira gujja kukuba era gutte buli muntu yenna na buli kisolo kyonna ekinaasangibwa ku ttale nga tekiyingiziddwa mu nnyumba.”’” 20  Oyo yenna ku baweereza ba Falaawo eyatya ekigambo kya Yakuwa, yayanguwa okuyingiza abaweereza be n’ebisolo bye mu nnyumba, 21  naye oyo yenna atassaayo mwoyo ku kigambo kya Yakuwa yaleka abaweereza be n’ebisolo bye ku ttale. 22  Yakuwa n’agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu omuzira gugwe ku nsi ya Misiri yonna,+ ne ku bantu ne ku nsolo ne ku bimera byonna ebiri mu nsi ya Misiri.”+ 23  Musa n’agolola omuggo gwe eri eggulu, Yakuwa n’aleeta ku nsi okubwatuka n’omuzira, era omuliro* ne guva mu ggulu ne gugwa ku nsi, era Yakuwa n’atonnyesa omuzira ku nsi ya Misiri. 24  Waaliwo omuzira, era omuliro gwali gwakira mu muzira. Omuzira gwali gwa maanyi nnyo; gwali tegubangawo mu nsi yonna eya Misiri kasookedde efuuka eggwanga.+ 25  Omuzira gwakuba buli kimu ekyali ku ttale mu nsi yonna eya Misiri; gwakuba abantu n’ensolo, era ne gukuba ebimera byonna, n’emiti gyonna egy’oku ttale.+ 26  Ekitundu ky’e Goseni ekyalimu Abayisirayiri kye kyokka ekitaakubibwa muzira.+ 27  Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti: “Ku mulundi guno nsobezza. Yakuwa mutuukirivu, era nze n’abantu bange ffe abali mu nsobi. 28  Weegayirire Yakuwa akomye okubwatuka n’omuzira. Ndi mwetegefu okubaleka mugende, era temujja kweyongera kubeera wano.” 29  Awo Musa n’amugamba nti: “Amangu ddala nga nnaakafuluma ekibuga, nja kuyimusa emikono gyange eri Yakuwa. Okubwatuka kujja kulekera awo, era n’omuzira tegujja kweyongera kugwa, olyoke omanye nti ensi ya Yakuwa.+ 30  Naye mmanyi nti ggwe n’abaweereza bo temujja kutya Yakuwa Katonda.” 31  Ebigoogwa ne ssayiri byayonoonebwa nnyo kubanga ssayiri yali atuuse okukungulwa ate ebigoogwa byali bimulisizza. 32  Naye eŋŋaano* teyayonoonebwa nnyo kubanga yo eyengera luvannyumako. 33  Awo Musa n’ava awaali Falaawo n’afuluma ekibuga n’ayimusa emikono gye eri Yakuwa, okubwatuka n’omuzira ne birekera awo, era n’enkuba n’erekera awo okutonnya.+ 34  Falaawo bwe yalaba ng’enkuba n’omuzira n’okubwatuka birekedde awo, n’addamu okwonoona era ye n’abaweereza be ne bakakanyaza emitima gyabwe.+ 35  Omutima gwa Falaawo gweyongera okuba omukakanyavu, era teyaleka Bayisirayiri kugenda, nga Yakuwa bwe yali agambye okuyitira mu Musa.+

Obugambo Obuli Wansi

Oboolyawo kitegeeza okumyansa okw’amaanyi.
Obut., “eŋŋaano ne kusemesi.” Kusemesi kika kya ŋŋaano etaali nnungi nnyo eyalimibwanga edda mu Misiri.