Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Okukungubaga 5:1-22

EBIRIMU

  • Abantu basaba embeera etereere

    • “Jjukira ekitutuuseeko” (1)

    • “Zitusanze kubanga twonoonye” (16)

    • “Tukomyeewo gy’oli, Ai Yakuwa” (21)

    • “Ebintu byonna ka bibe nga bwe byabanga edda” (21)

5  Ai Yakuwa, jjukira ekitutuuseeko. Tunula olabe bwe tuswadde.+   Obusika bwaffe buweereddwa abantu be tutamanyi, ennyumba zaffe ziweereddwa abagwira.+   Tufuuse bamulekwa abatalina kitaabwe; bannyaffe balinga bannamwandu.+   Amazzi ge tunywa gaffe naye tugasasulira,+ n’enku zaffe naye tuzigula buguzi.   Abatugoba banaatera okutukwata;Tukooye naye tebatuganya kuwummula.+   Twesigama ku Misiri+ ne Bwasuli+ okufuna emmere etumala.   Bajjajjaffe abaayonoona tebakyaliwo, naye ffe tusasulidde ensobi zaabwe.   Abaweereza kati be batufuga; tewali ayinza kutununula mu mukono gwabwe.   Olw’ekitala ekiri mu ddungu, tussa obulamu bwaffe mu kabi+ nga tugenze okuleeta emmere. 10  Olususu lwaffe lwokya ng’ekyokero, olw’enjala ey’amaanyi.+ 11  Baka basajja abali mu Sayuuni n’abawala embeerera ab’omu bibuga bya Yuda bafeebezeddwa.*+ 12  Buli mukungu yasibibwa omukono n’alengejja,+ era abakadde tebassibwamu kitiibwa.+ 13  Abavubuka basitula olubengo, n’abalenzi beesittala olw’okwetikka enku ezizitowa. 14  Abasajja abakadde tebakyatuula ku miryango gya kibuga;+abavubuka tebakyakuba bivuga byabwe.+ 15  Tetukyalina ssanyu mu mitima gyaffe; amazina gaffe gafuuse kukungubaga.+ 16  Engule evudde ku mutwe gwaffe n’egwa. Zitusanze kubanga twonoonye! 17  Ebyo bireetedde omutima gwaffe okulwala,+N’amaaso gaffe okuyimbaala,+ 18  Olw’okuba Olusozi Sayuuni lufuuse matongo;+ ebibe kati kwe bitambulira. 19  Naye ggwe, Ai Yakuwa, otuula ku ntebe ey’obwakabaka emirembe gyonna. Entebe yo ey’obwakabaka ya mirembe na mirembe.+ 20  Lwaki otwerabira emirembe gyonna, era n’otwabulira okumala ekiseera ekiwanvu bwe kityo?+ 21  Tukomyewo gy’oli, Ai Yakuwa, naffe tujja kudda gy’oli kyeyagalire.+ Ebintu byonna ka bibe nga bwe byabanga edda.+ 22  Kyokka, otwesambidde ddala. Okyatusunguwalidde nnyo.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “basobezeddwako.”