Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Okukungubaga 4:1-22

EBIRIMU

  • Ebizibu ebyaliwo nga Yerusaalemi kizingiziddwa

    • Ebbula ly’emmere (4, 5, 9)

    • Abakazi bafumba abaana baabwe (10)

    • Yakuwa afuse obusungu bwe (11)

א [Alefu] 4  Zzaabu abadde amasamasa afumye, zzaabu omulungi!+ Amayinja amatukuvu+ gasaasaanyiziddwa mu nguudo zonna!+ ב [Besu]   Abaana ba Sayuuni abaagalwa, abaali ab’omuwendo nga zzaabu alongooseddwa,Kati batwalibwa ng’ebibya eby’ebbumba,Ebyakolebwa n’emikono gy’omubumbi. ג [Gimeri]   N’ebibe biwa abaana baabyo amabeere okuyonka,Naye omuwala w’abantu bange afuuse mukambwe+ nga maaya mu ddungu.+ ד [Dalesi]   Olulimi lw’omwana ayonka lukwatira ku kibuno kye olw’ennyonta. Abaana basaba emmere,+ naye tewali agibawa.+ ה [Ke]   Abaalyanga emmere ennungi bagalamidde mu nguudo olw’enjala.+ Abaakuzibwa nga bambala engoye ez’ebbeeyi*+ beebaka mu ntuumu z’evvu. ו [Wawu]   Ekibonerezo kya* muwala w’abantu bange kisinga ekibonerezo* ky’ekibuga Sodomu,+Ekyazikirizibwa mu kaseera obuseera nga tewali akiyamba.+ ז [Zayini]   Abanaziri+ ba Sayuuni baali balongoofu okusinga omuzira, baali beeru okusinga amata. Baali bamyufu okusinga amayinja ag’omuwendo ag’omu nnyanja; baali ng’amayinja ga safiro amazigule. ח [Kesu]   Kati bafuuse baddugavu okusinga omunyale;Kizibu okubategeera nga bali mu nguudo. Olususu lwabwe lukwatidde ku magumba gaabwe;+ lufuuse ng’ekiti ekikalu. ט [Tesu]   Abo abattiddwa ekitala basinga abo abafudde enjala;+Bakogga olw’obutaba na mmere ne baba ng’abafumitiddwa ekitala. י [Yodi] 10  Emikono gy’abakazi ab’ekisa gifumbye abaana baabwe.+ Bafuuse mmere yaabwe ey’okukungubaga mu kiseera eky’okugwa kw’omuwala w’abantu bange.+ כ [Kafu] 11  Yakuwa alaze ekiruyi kye;Afuse obusungu bwe obubuubuuka.+ Akoleeza omuliro mu Sayuuni ogusaanyaawo emisingi gyakyo.+ ל [Lamedi] 12  Bakabaka b’ensi n’abantu bonna ababeera mu nsi baali tebakikkirizaNti omulabe n’oyo abawalana bayinza okuyingira mu miryango gya Yerusaalemi.+ מ [Memu] 13  Ekyo kyabaawo olw’ebibi bya bannabbi baakyo n’ensobi za bakabona baakyo,+Abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaali mu kyo.+ נ [Nuni] 14  Bannabbi ne bakabona babungeetera mu nguudo nga balinga bamuzibe.+ Bafuuse abatali balongoofu olw’omusaayi,+Ne kiba nti tewali asobola kukwata ku byambalo byabwe. ס [Sameki] 15  Babagamba nti: “Mugende eri! Temuli balongoofu!” “Mugende eri! Temutukwatako!” Tebalina wa kubeera era babundabunda. Abantu ab’omu mawanga bagamba nti: “Tebasobola kubeera naffe wano.*+ פ [Pe] 16  Yakuwa abasaasaanyizza;+Tajja kuddamu kubakwatirwa kisa. Abantu tebajja kuwa bakabona kitiibwa+ wadde okulaga abakadde ekisa.”+ ע [Ayini] 17  Ne kaakano amaaso gaffe gakooye okunoonyeza obwereere obuyambi.+ Twanoonya obuyambi okuva eri eggwanga eryali litasobola kutulokola.+ צ [Sade] 18  Batuyigga buli we tugenda+ ne kiba nti tetusobola kutambulira mu bifo byaffe ebya lukale. Enkomerero yaffe esembedde; ennaku zaffe ziweddeyo, kubanga enkomerero yaffe etuuse. ק [Kofu] 19  Abaali batuwondera baali bawenyuka okusinga empungu ez’omu bbanga.+ Baatugobera ku nsozi; baatuteegera mu ddungu. ר [Lesu] 20  Oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta+ era omukka gw’omu nnyindo zaffe, bamukwasizza mu kinnya kyabwe ekinene,+Oyo gwe twayogerako nti: “Tulituula mu kisiikirize kye mu mawanga.” ש [Sini] 21  Jaganya era sanyuka ggwe muwala wa Edomu+ abeera mu nsi ya Uzzi. Naye naawe ekikopo kijja kukuweebwa,+ era ojja kutamiira weeyambule osigale bukunya.+ ת [Tawu] 22  Ggwe muwala wa Sayuuni, ekibonerezo olw’ensobi zo kiweddeyo. Tajja kuddamu kukutwala mu buwaŋŋanguse.+ Naye Katonda ajja kujjukira ensobi zo, ggwe muwala wa Edomu. Ajja kwanika ebibi byo.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “engoye emmyufu,” kwe kugamba, engoye emmyufu ez’ebbeeyi.
Obut., “Ensobi ya.”
Obut., “ekibi.”
Oba, “kubeera wano ng’abagwira.”