Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Okubikkulirwa 22:1-21

EBIRIMU

  • Omugga gw’amazzi ag’obulamu (1-5)

  • Okufundikira (6-21)

    • ‘Jjangu! Nywa amazzi ag’obulamu ku bwereere’ (17)

    • “Jjangu, Mukama waffe Yesu” (20)

22  N’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu,+ agatangaala ng’endabirwamu, nga gava mu ntebe ya Katonda ey’obwakabaka n’ey’Omwana gw’Endiga+  ne gukulukutira mu makkati g’oluguudo olugazi. Eruuyi n’eruuyi w’omugga waaliyo emiti egy’obulamu egibala ebibala 12 buli mwaka, nga gibala buli mwezi. Era ebikoola by’emiti byali bya kuwonya mawanga.+  Eyo teribaayo nate kikolimo. Naye entebe ya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga+ eriba mu kibuga, era abaddu be balimuweereza mu buweereza obutukuvu;  baliraba amaaso ge,+ era erinnya lye liriba ku byenyi byabwe.+  Tewalibaawo kiro nate+ era tebalyetaaga kitangaala kya ttaala wadde eky’enjuba, kubanga Yakuwa* Katonda alibamulisa,+ era balifuga nga bakabaka emirembe n’emirembe.+  Era n’aŋŋamba nti: “Ebigambo bino byesigika era bya mazima.+ Yakuwa* Katonda eyaluŋŋamya bannabbi+ atumye malayika we okulaga abaddu be ebintu ebiteekwa okubaawo amangu.  Laba! Nzija mangu.+ Alina essanyu oyo akwata ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu muzingo guno.”+  Nze Yokaana, nze nnali mpulira era nze nnali ndaba ebintu bino. Bwe nnabiwulira era ne mbiraba, ne nvunnama okusinza mu maaso g’ebigere bya malayika eyali andaga ebintu bino.  Naye n’aŋŋamba nti: “Weegendereze! Ekyo tokikola! Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi era ng’abo abakwata ebigambo eby’omu muzingo guno. Sinza Katonda.”+ 10  Era n’aŋŋamba nti: “Toteeka kabonero ku bigambo by’obunnabbi eby’omuzingo guno, kubanga ekiseera ekigereke kinaatera okutuuka. 11  Oyo akola ebitali bya butuukirivu yeeyongere okukola ebitali bya butuukirivu; era omugwagwa yeeyongere okubeera omugwagwa; naye omutuukirivu yeeyongere okukola eby’obutuukirivu, n’omutukuvu yeeyongere okubeera omutukuvu. 12  “‘Laba! Nzija mangu. Buli omu nja kumuwa empeera okusinziira ku mulimu gwe.+ 13  Nze Alufa era nze Omega,*+ asooka era asembayo, olubereberye era enkomerero. 14  Balina essanyu abo abooza ebyambalo byabwe,+ basobole okukkirizibwa okulya ku miti egy’obulamu+ n’okuyingira mu kibuga nga bayita mu miryango gyakyo.+ 15  Ebweru eriyo mbwa* n’abo abeenyigira mu by’obusamize, n’abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu,* n’abatemu, n’abasinza ebifaananyi, na buli ayagala obulimba era alimba.’+ 16  “‘Nze Yesu nnatuma malayika wange okubabuulira ebintu bino, ebibiina bisobole okuganyulwa. Nze kikolo era ezzadde lya Dawudi,+ era emmunyeenye ey’oku makya eyaka ennyo.’”+ 17  Omwoyo n’omugole+ tebirekera awo kugamba nti: “Jjangu!” Era buli awulira agambe nti: “Jjangu!” Era buli alumwa ennyonta ajje;+ buli ayagala atwale amazzi ag’obulamu ku bwereere.+ 18  “Mpa obujulirwa eri buli muntu awulira ebigambo eby’obunnabbi eby’omu muzingo guno: Buli ayongerako ku bintu bino,+ Katonda alimwongerako ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu muzingo guno;+ 19  era buli muntu yenna aggyamu ekintu kyonna mu bigambo by’omu muzingo gw’obunnabbi buno, Katonda aliggya omugabo gwe ku miti egy’obulamu+ ne mu kibuga ekitukuvu,+ ebintu ebiwandiikiddwa mu muzingo guno. 20  “Oyo awa obujulirwa ku bintu bino agamba nti, ‘Nzija mangu.’”+ “Amiina! Jjangu, Mukama waffe Yesu.” 21  Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu kibeerenga n’abatukuvu.

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku Kub 1:8.
Kwe kugamba, abo abakola ebikolwa ebyenyinyaza mu maaso ga Katonda.
Laba Awanny.