Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Okubala 29:1-40

EBIRIMU

  • Ebiweebwayo ebitali bimu (1-40)

    • Olunaku olw’okufuuwa amakondeere (1-6)

    • Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi (7-11)

    • Embaga ey’Ensiisira (12-38)

29  “‘Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’omusanvu mujja kubeeranga n’olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+ Ku lunaku olwo mujja kufuuwanga amakondeere.+  Kino kye kiweebwayo ekyokebwa kye munaawangayo okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ento ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;  n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke, kijja kuba ebigera bya efa bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni olw’ente ennume, ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume,  n’ekigera kimu kya kkumi olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu,  n’omwana gw’embuzi omulume gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi okubatangirira.  Mujja kubiwaayo okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako,+ era n’ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako,+ awamu n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako,+ ng’enkola eya bulijjo bw’eri, bibeere evvumbe eddungi,* ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.  “‘Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu mujja kubeeranga n’olukuŋŋaana olutukuvu,+ era mujjanga kwebonyaabonya.* Temukolanga mulimu gwonna.+  Mujjanga kuwaayo ekiweebwayo kino ekyokebwa eri Yakuwa okuba evvumbe eddungi:* ente ento ennume emu, endiga ennume emu, n’endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi.+  Munaawangayo n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke, ebigera bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, olw’ente ennume, ebigera bibiri bya kkumi olw’endiga ennume, 10  n’ekimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume omusanvu; 11  n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo olw’ekibi ekiweebwayo okutangirira ebibi,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako, awamu n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako. 12  “‘Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu mujja kubanga n’olukuŋŋaana olutukuvu. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna, era mujja kukwatanga embaga ya Yakuwa okumala ennaku musanvu.+ 13  Era munaawangayo ekiweebwayo kino ekyokebwa,+ ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ento ennume 13, endiga ennume 2, n’endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi.+ 14  Munaawangayo n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke, kijja kuba ebigera bisatu bya kkumi eby’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, olwa buli emu ku nte ennume ekkumi n’essatu, n’ebigera bibiri bya kkumi, olwa buli emu ku ndiga ebbiri ennume, 15  n’ekimu kya kkumi eky’ekigera olwa buli emu ku ndiga ento ennume ekkumi n’ennya; 16  n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+ 17  “‘Ku lunaku olw’okubiri munaawangayo ente ento ennume 12, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 18  n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 19  n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako, awamu n’ebiweebwayo eby’eby’okunywa ebigenderako.+ 20  “‘Ku lunaku olw’okusatu munaawangayo ente ento ennume 11, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 21  n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 22  n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+ 23  “‘Ku lunaku olw’okuna munaawangayo ente ennume 10, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 24  n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 25  n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+ 26  “‘Ku lunaku olw’okutaano munaawangayo ente ennume 9, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 27  n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 28  n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+ 29  “‘Ku lunaku olw’omukaaga munaawangayo ente ennume 8, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 30  n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 31  n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+ 32  “‘Ku lunaku olw’omusanvu munaawangayo ente ennume 7, endiga ennume 2, endiga ento ennume 14 nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 33  n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 34  n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+ 35  “‘Ku lunaku olw’omunaana munaabanga n’olukuŋŋaana olw’enjawulo. Temukolanga mulimu gwa maanyi gwonna.+ 36  Era munaawangayo ekiweebwayo kino ekyokebwa, ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa: ente ennume emu, endiga ennume emu, endiga ento ennume musanvu nga buli emu ya mwaka gumu, nga zonna nnamu bulungi;+ 37  n’ebiweebwayo ebigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eby’eby’okunywa, olw’ente ennume n’endiga ennume n’endiga ento ennume okusinziira ku muwendo gwazo, ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri; 38  n’embuzi emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, okugatta ku kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa n’ebiweebwayo ebikigenderako, eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa.+ 39  “‘Ebyo bye munaawangayo eri Yakuwa ku mbaga zammwe+ okugatta ku biweebwayo byammwe eby’obweyamo,+ n’ebiweebwayo byammwe ebya kyeyagalire+ bye muwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa,+ n’ebiweebwayo byammwe eby’emmere ey’empeke,+ n’ebiweebwayo byammwe eby’eby’okunywa,+ ne ssaddaaka zammwe ez’emirembe.’”+ 40  Musa n’abuulira Abayisirayiri ebyo byonna Yakuwa bye yamulagira.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Okutwalira awamu, “okwebonyaabonya” kitegeeza okwerumya mu ngeri ez’enjawulo, omuli n’okusiiba.
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”