Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Okubala 14:1-45

EBIRIMU

  • Abantu baagala okuddayo e Misiri (1-10)

    • Yoswa ne Kalebu boogera ekituufu (6-9)

  • Yakuwa asunguwala; Musa amwegayirira (11-19)

  • Ekibonerezo: ba kumala emyaka 40 mu ddungu (20-38)

  • Abayisirayiri bawangulwa Abamaleki (39-45)

14  Awo ekibiina kyonna ne kireekaana, abantu ne bakuba ebiwoobe era ne bakaaba ekiro ekyo kyonna.+  Abayisirayiri bonna ne batandika okwemulugunya ku Musa ne Alooni,+ era ekibiina kyonna ne kibagamba nti: “Kale singa twafiira mu nsi ya Misiri, oba singa twafiira mu ddungu lino!  Lwaki Yakuwa atutwala mu nsi eyo okuttibwa n’ekitala?+ Bakazi baffe n’abaana baffe bagenda kufuuka munyago.+ Okuddayo e Misiri si kye kisinga obulungi?”+  Era baagambagana nti: “Tulonde omukulembeze tuddeyo e Misiri!”+  Awo Musa ne Alooni ne bavunnama mu maaso g’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ekyali kikuŋŋaanye.  Awo Yoswa+ mutabani wa Nuuni ne Kalebu+ mutabani wa Yefune, abaali ku abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuza ebyambalo byabwe,  ne bagamba ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri nti: “Ensi gye twayitamu nga tugiketta nnungi nnyo ddala.+  Yakuwa bw’aba ng’atusanyukira, ajja kututwala mu nsi eyo agituwe; ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.+  Naye temujeemera Yakuwa era temutya bantu ba mu nsi+ kubanga tujja kubasaanyaawo.* Tebakyalina bukuumi, naye ffe Yakuwa ali naffe.+ Temubatya.” 10  Kyokka ekibiina kyonna ne kigamba okubakuba amayinja.+ Naye ekitiibwa kya Yakuwa ne kirabikira Abayisirayiri bonna ku weema ey’okusisinkaniramu.+ 11  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Abantu bano balituusa wa obutanzisaamu kitiibwa,+ era balituusa wa obutanneesiga wadde nga nkoze obubonero bungi mu bo?+ 12  Ka mbaleetere endwadde mbasaanyeewo, ggwe nkufuule eggwanga eddene era ery’amaanyi okubasinga.”+ 13  Naye Musa n’agamba Yakuwa nti: “Abamisiri mwe waggya abantu bano ng’okozesa amaanyi go bajja kuwulira ekintu kino,+ 14  bakibuulire abantu b’omu nsi eno abawulidde nti ggwe Yakuwa oli mu bantu bano+ era obalabikidde maaso ku maaso.+ Ggwe Yakuwa, era ekire kyo kiyimirira waggulu waabwe; emisana obakulemberamu ng’oli mu mpagi ey’ekire ate ekiro obakulemberamu ng’oli mu mpagi ey’omuliro.+ 15  Singa otta abantu bano bonna omulundi gumu,* amawanga agawulidde ku ttutumu lyo gajja kugamba nti: 16  ‘Yakuwa yattira abantu bano mu ddungu olw’okuba yali tasobola kubatwala mu nsi gye yabalayirira.’+ 17  Kale kaakano Ai Yakuwa, amaanyi go amangi ka geeyoleke nga bwe wasuubiza, bwe wagamba nti: 18  ‘Yakuwa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+ asonyiwa ensobi n’okwonoona, naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango, abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe.’+ 19  Nkwegayiridde, abantu bano basonyiwe ensobi zaabwe ng’okwagala kwo okungi okutajjulukuka bwe kuli, era nga bw’obadde obasonyiwa okuviira ddala e Misiri okutuusa kati.”+ 20  Awo Yakuwa n’agamba nti: “Mbasonyiye nga bw’ogambye.+ 21  Kyokka, nga bwe ndi omulamu, ensi yonna ejja kujjula ekitiibwa kya Yakuwa.+ 22  Naye abantu bonna abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero+ bwe nnakola e Misiri ne mu ddungu kyokka ne bangezesa+ emirundi gino ekkumi, era ne batawuliriza ddoboozi lyange,+ 23  tebaliraba nsi gye nnalayirira bakitaabwe. Abo bonna abatanzisaamu kitiibwa tebaligiraba.+ 24  Naye olw’okuba omuweereza wange Kalebu+ abadde n’omwoyo ogw’enjawulo n’angoberera n’omutima gwe gwonna, nja kumutwala mu nsi gye yagendamu era ezzadde lye lirigitwala.+ 25  Okuva Abamaleki n’Abakanani+ bwe babeera mu kiwonvu, enkya mukyuse mugende mu ddungu nga muyita mu kkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu.”+ 26  Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: 27  “Ekibiina kino ekibi kirituusa wa okunneemulugunyaako?+ Mpulidde okwemulugunya Abayisirayiri kwe banneemulugunyaako.+ 28  Bagambe nti, ‘“Nga bwe ndi omulamu,” Yakuwa bw’agamba, “nja kubakolera ddala nga bwe mpulidde mwogera!+ 29  Emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino,+ abo bonna mu mmwe abaawandiikibwa, okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu, mmwe mmwenna abanneemulugunyizzaako.+ 30  Tewali n’omu ku mmwe ajja kuyingira mu nsi gye nnalayira* okubawa okubeeramu,+ okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.+ 31  “‘“Abaana bammwe be mugambye nti bajja kufuuka munyago,+ abo be nja okuyingiza mu nsi, era bajja kumanya ensi gye munyoomye.+ 32  Naye mmwe, emirambo gyammwe gijja kugwa mu ddungu lino. 33  Batabani bammwe baliba basumba mu ddungu okumala emyaka 40,+ era balisasulira ebikolwa byammwe eby’obutali bwesigwa,* okutuusa omulambo gwa buli omu ku mmwe lwe guligwa mu ddungu.+ 34  Ng’omuwendo gw’ennaku ze mwamala nga muketta ensi bwe guli, ze nnaku 40,+ nga buli lunaku lubalwamu mwaka, mujja kumala emyaka 40+ nga musasulira ensobi zammwe, mulyoke mutegeere kye kitegeeza okumpakanya.* 35  “‘“Nze Yakuwa nze njogedde, era bw’entyo bwe nja okukola ekibiina kino kyonna ekibi, abo abakuŋŋaanye okumpakanya: Bajja kuzikiririra mu ddungu lino era muno mwe bajja okufiira.+ 36  Abasajja Musa be yatuma okugenda okuketta ensi, abaakomawo ne boogera obubi ku nsi ne baleetera ekibiina kyonna okumwemulugunyaako,+ 37  abasajja abo abaayogera obubi ku nsi, bajja kubonerezebwa bafiire mu maaso ga Yakuwa.+ 38  Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, be bokka abajja okusigalawo nga balamu ku abo abaagenda okuketta ensi.”’”+ 39  Musa bwe yagamba Abayisirayiri bonna ebigambo ebyo, abantu ne banakuwala nnyo. 40  Awo ne bagolokoka ku makya ennyo ne bagezaako okwambuka ku ntikko y’olusozi nga bagamba nti: “Tuutuno twetegese okugenda mu kifo Yakuwa kye yayogerako, kubanga twonoonye.”+ 41  Naye Musa n’agamba nti: “Lwaki mujeemera ekiragiro kya Yakuwa? Temujja kuwangula. 42  Temwambuka kubanga Yakuwa tali nammwe; abalabe bammwe bajja kubawangula.+ 43  Abamaleki n’Abakanani abali eyo bajja kubalwanyisa;+ mujja kuttibwa n’ekitala. Olw’okuba mwalekera awo okugoberera Yakuwa, Yakuwa tajja kuba nammwe.”+ 44  Kyokka beetulinkiriza ne bambuka ku ntikko y’olusozi,+ naye essanduuko y’endagaano ya Yakuwa teyava wakati mu lusiisira era ne Musa naye bw’atyo.+ 45  Awo Abamaleki n’Abakanani abaali babeera ku lusozi olwo ne bakka ne babakuba ne babasaasaanya okutuukira ddala e Koluma.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “abantu abo mugaati gye tuli.”
Obut., “ng’atta omuntu omu.”
Obut., “nnawanikira omukono gwange.”
Obut., “obwamalaaya.”
Oba, “kye kitegeeza nze okuba omulabe wammwe.”