Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Mikka 7:1-20

EBIRIMU

  • Abayisirayiri bakola ebintu ebibi (1-6)

    • Abalabe b’omuntu ba mu nnyumba ye (6)

  • “Nnaalindiriranga” (7)

  • Abantu ba Katonda bafuna obuweerero (8-13)

  • Mikka asaba era atendereza Katonda (14-20)

    • Yakuwa amuddamu (15-17)

    • ‘Katonda ki alinga Yakuwa?’ (18)

7  Zinsanze, kubanga nfuuse ng’oyoAtasanga kirimba kya zzabbibu ky’ayinza kulya,Oba ettiini erisooka okwengera lye njagala ennyo,Ng’okukungula kw’ebibala eby’omu kiseera eky’omusanaN’okw’ezzabbibu kuwedde.   Mu nsi temukyali muntu mwesigwa,*Era tewakyali muntu mwesimbu.+ Bonna bateega abantu okuyiwa omusaayi.+ Buli muntu ayigga muganda we n’ekitimba.   Emikono gyabwe mikugu mu kukola ebintu ebibi;+Omwami asaba okubaako ky’aweebwa,Omulamuzi alamulira mpeera,+Omukulu ayogera kye yeegomba,+Era bonna bateeseza wamu.*   Mu bo asingayo obulungi alinga amaggwa,Ate asingayo okuba omwesimbu mu bo mubi okusinga olukomera olw’amaggwa. Olunaku abakuumi bo lwe baayogerako, olunaku lw’obuyinike lujja.+ Era mujja kusoberwa.+   Temwesiga banywanyi bammwe,Temwesiga mikwano gyammwe egy’oku lusegere.+ Weegendereze by’oyogera n’oyo eyeebase mu kifuba kyo.   Omwana ow’obulenzi anyooma kitaawe,Omwana ow’obuwala akikinala ku nnyina,+Muka mwana akikinala ku nnyazaala we;+Abalabe b’omuntu be bantu ab’omu nnyumba ye.+   Naye nze Yakuwa gwe nnaatunuuliranga.+ Nnaalindiriranga n’obugumiikiriza Katonda ow’obulokozi bwange.+ Katonda wange ajja kumpulira.+   Ggwe omulabe* wange, tosanyuka olw’obuzibu bwe ndimu. Wadde nga ngudde, nja kuyimuka;Wadde nga ndi mu nzikiza, Yakuwa ajja kuba kitangaala gye ndi.   Nja kugumiikiriza obusungu bwa Yakuwa—Kubanga nsobezza gy’ali+Okutuusa lw’anampolereza, ne ndagibwa obwenkanya. Ajja kundeeta mu kitangaala,Nja kutunuulira obutuukirivu bwe. 10  Omulabe wange eyali aŋŋamba nti: “Yakuwa Katonda wo aliwa?”+ Ajja kukiraba aswale nnyo. Amaaso gange gajja kumutunuulira. Ajja kulinnyirirwa ng’ebisooto by’omu nguudo. 11  Luliba lunaku lwa kuzimba bbugwe wo ow’amayinja,Ku lunaku olwo, ensalo eryongezebwayo.* 12  Ku lunaku olwo balijja gy’oliNga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,Okuva e Misiri okutuukira ddala ku Mugga;*Okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.+ 13  Ensi erifuuka matongo olw’abo abagibeeramu,Olw’ebyo bye bakoze.* 14  Lunda abantu bo ng’okozesa omuggo gwo; lunda ekisibo ky’obusika bwo,+Abo abaali babeera bokka mu kibira—wakati mu nnimiro y’emiti egy’ebibala. Ka balye ku by’e Basani n’eby’e Gireyaadi+ nga bwe kyali mu biseera eby’edda. 15  “Nga bwe kyali nga muva mu nsi ya Misiri,Ndibalaga ebintu eby’ekitalo.+ 16  Amawanga galiraba ne gakwatibwa ensonyi wadde nga ga maanyi nnyo.+ Balikwata ku mimwa gyabwe;Baliziba amatu. 17  Balirya enfuufu ng’emisota;+Okufaananako ebyewalula eby’omu nsi, balijja nga bakankana okuva mu bigo byabwe. Balijja eri Yakuwa Katonda waffe nga batidde,Era balimutya.”+ 18  Katonda ki alinga ggweAsonyiwa ensobi n’okwonoona+ kw’abo abasigaddewo ab’obusika bwo?+ Tolisunguwala mirembe na mirembe,Kubanga osanyukira okwagala okutajjulukuka.+ 19  Oliddamu okutusaasira,+ era olirinnyirira* ebisobyo byaffe. Ebibi byabwe byonna olibisuula ebuziba mu nnyanja.+ 20  Oliba mwesigwa eri Yakobo,Oliraga Ibulayimu okwagala okutajjulukuka. Nga bwe walayirira bajjajjaffe mu nnaku ez’edda.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “muweddemu omuntu omwesigwa.”
Obut., “bakirukira wamu.”
Mu lwebbulaniya ekigambo kino kitegeeza, omulabe omukazi.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekiragiro kiriba wala.”
Omugga Fulaati.
Obut., “olw’ekibala ky’ebikolwa byabwe.”
Oba, “oliwangula.”