Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Mikka 3:1-12

EBIRIMU

  • Abakulembeze ne bannabbi bavumirirwa (1-12)

    • Omwoyo gwa Yakuwa gujjuza Mikka amaanyi (8)

    • Bakabona bayigiririza ssente (11)

    • Yerusaalemi kijja kufuuka ntuumu ya bifunfugu (12)

3  Awo ne ŋŋamba nti: “Muwulire mmwe abakulu ba YakoboNammwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri.+ Temusaanidde kumanya bwenkanya?   Naye mukyawa ebirungi+ ne mwagala ebibi;+Muyuza eddiba ku bantu bange n’ennyama ku magumba gaabwe.+   Era mulya ennyama y’abantu bange,+Ne mubabaagako eddiba lyabwe,Ne mumenyaamenya amagumba gaabwe, ne mugabetenta+Ne gaba ng’ebifumbibwa mu ntamu,* era ng’ennyama eri mu nsaka.   Mu kiseera ekyo mulikoowoola Yakuwa abayambe,Naye talibaddamu. Mu kiseera ekyo alibakweka obwenyi bwe,+Olw’ebintu ebibi bye mukola.+   Bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bannabbi abakyamya abantu bange,+Abalangirira nti ‘Mirembe!’+ ng’eno bwe baluma* n’amannyo gaabwe+Ate ne balangirira olutalo ku oyo atassa kintu mu kamwa kaabwe:   ‘Muliba na kiro;+ tewaliba kwolesebwa;+Muliba na kizikiza kyokka; tewaliba kulagula. Eri bannabbi enjuba erigwa,Era obudde obw’emisana bulibafuukira kizikiza.+   Abo abategeeza abalala okwolesebwa balikwatibwa ensonyi,+N’abalaguzi baliswala. Bonna balibikka ku mimwa gyabwe,*Olw’okuba Katonda aliba tabaddamu.’”   Naye nze omwoyo gwa Yakuwa gunzijuzza amaanyi,Era nzijudde obwenkanya n’obuvumuNsobole okubuulira Yakobo obujeemu bwe ne Isirayiri ekibi kye.   Muwulire kino mmwe abakulu b’ennyumba ya YakoboNammwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,+Abakyawa obwenkanya era abakyamya buli kintu ekitereevu,+ 10  Abazimbisa Sayuuni ebikolwa eby’okuyiwa omusaayi era abazimbisa Yerusaalemi obutali butuukirivu.+ 11  Abakulembeze* be balamulira nguzi,+Bakabona be bayigiriza babeeko kye basasulwa,+Ne bannabbi be balagulira ssente.*+ Kyokka Yakuwa gwe beesigamako nga bagamba nti: “Yakuwa tali naffe?+ Tewali kabi konna kalitutuukako.”+ 12  Kale mmwe muliviirakoSayuuni okukabalwa ng’ennimiro,Yerusaalemi okufuuka entuumu y’ebifunfugu,+N’olusozi lw’Ennyumba ya Katonda* okufuuka ng’ebifo ebigulumivu ebiri mu kibira.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mu ntamu ey’omumwa omugazi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “nga balina eky’okugaaya.”
Obut., “masulubu gaabwe.”
Obut., “Emitwe.”
Oba, “ffeeza.”
Oba, “N’olusozi lwa yeekaalu.”