Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Mikka 2:1-13

EBIRIMU

  • Zibasanze abo abanyigiriza abalala! (1-11)

  • Abayisirayiri bakuŋŋaanyizibwa ne baddamu okuba obumu (12, 13)

    • Ensi eribaamu oluyoogaano (12)

2  “Zibasanze abo abayiiya ebintu ebibi,Abalowooza okukola ebibi nga bali ku bitanda byabwe! Bwe bukya ku makya ne babikola,Olw’okuba balina amaanyi n’obusobozi okubikola.+   Beegomba ebibanja ne babinyaga,+N’amayumba ne bagatwala;Omusajja bamutwalako ennyumba ye,+Bamutwalako obusika bwe.   N’olwekyo bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Laba nteekateeka okuleeta akabi ku bantu bano,+ akabi ke mutaliyinza kwewala.+ Muliba temukyatambuza malala+ kubanga kiriba kiseera kizibu nnyo.+   Ku lunaku olwo abantu baligera olugero olubakwatako mmwe,Era balibayimbira oluyimba olw’okukungubaga.+ Baligamba nti: “Tuzikiridde!+ Omugabo gw’abantu bange aguwaanyisizza—agunzigyeeko!+ Ebibanja byaffe abigabidde atali mwesigwa.”   Toliba na muntu mu kibiina kya Yakuwa aleega omuguwa ogupima,Okusobola okugabanyaamu ensi.   “Mulekere awo okubuulira!” babuulira,“Tebalina kubuulira bintu bino;Tetuliswazibwa!”   Ggwe ennyumba ya Yakobo, abantu bagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa tegukyagumiikiriza? Bino bye bikolwa bye?” Abo abatambulira mu bugolokofu ebigambo byange tebibaleetera ebirungi?   Jjuuzi abantu bange baafuuka ng’abalabe. Musika kyeere ebintu eby’omuwendo ku byambalo*By’abo abatambula nga tebalina kye batya, nga bali ng’abo abava mu lutalo.   Mugoba abakazi ab’omu bantu bange mu mayumba mwe beeyagalira. Abaana baabwe mubaggyako ebintu ebirungi bye mba mbawadde era temubibaddiza. 10  Yimuka ogende, kubanga kino si kifo kya kuwummuliramu. Olw’obutali bulongoofu,+ wajja kubaawo okuzikiriza, okuzikiriza okw’amaanyi.+ 11  Omuntu bw’agoberera empewo n’obulimba era n’alimba ng’agamba nti: “Nja kukubuulira ebikwata ku nvinnyo n’ebitamiiza,” Olwo oyo y’aba omubuulizi w’abantu bano!+ 12  Ndibakuŋŋaanya mmwe mmwenna aba Yakobo;Ndikuŋŋaanya aba Isirayiri abaasigalawo.+ Ndibateeka wamu ng’endiga mu kisibo,Ng’ekisibo ekiri mu ddundiro;+Eyo eribaayo oluyoogaano.’+ 13  Oyo amenya alibakulemberamu;Balimenya ne bayita mu mulyango, era ne bafulumira omwo.+ Kabaka waabwe aliyitamu ng’abakulembeddemu,Era Yakuwa alibeera mu maaso gaabwe.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “n’ebyambalo.”