Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Matayo 15:1-39

EBIRIMU

  • Obulombolombo bw’abantu (1-9)

  • Ebyonoona omuntu biva mu mutima (10-20)

  • Omukazi Omufoyiniikiya eyalaga okukkiriza okw’amaanyi (21-28)

  • Yesu awonya endwadde nnyingi (29-31)

  • Yesu aliisa abantu 4,000 (32-39)

15  Awo Abafalisaayo n’abawandiisi+ ne bava e Yerusaalemi ne bajja eri Yesu, ne bamugamba nti:  “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe? Ng’ekyokulabirako, tebanaaba mu ngalo* nga bagenda okulya emmere.”+  N’abaddamu nti: “Lwaki mumenya amateeka ga Katonda olw’obulombolombo bwammwe?+  Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba nti, ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,’+ era nti ‘Oyo avuma kitaawe oba nnyina attibwenga.’+  Naye mmwe mugamba nti, ‘Oyo agamba kitaawe oba nnyina nti: “Kyonna kye nnandikuwadde okukuyamba nnakiwaayo ng’ekirabo eri Katonda,”+  aba talina kuyamba kitaawe.’ Mudibizza ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwammwe.+  Mmwe bannanfuusi, Isaaya bye yaboogerako bituufu, bwe yagamba nti:+  ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala.  Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.’”+ 10  Awo n’ayita ekibiina ky’abantu n’abagamba nti: “Muwulire era mutegeere amakulu g’ebigambo bino:+ 11  Ekyo ekiyingira mu kamwa k’omuntu si kye kimwonoona, wabula ekyo ekiva mu kamwa ke.”+ 12  Awo abayigirizwa ne bajja ne bamugamba nti: “Okimanyi nti Abafalisaayo banyiize bwe bawulidde by’oyogedde?”+ 13  N’abaddamu nti: “Buli kimera Kitange ow’omu ggulu ky’ataasimba, kijja kusimbulwa. 14  Abo mubaleke. Be bakulembeze abazibe b’amaaso. Kale omuzibe w’amaaso bw’akulembera muzibe munne, bombi bagwa mu kinnya.”+ 15  Peetero n’amugamba nti: “Tunnyonnyole amakulu g’ekyokulabirako ekyo.” 16  N’abagamba nti: “Nammwe temunnaba kutegeera?+ 17  Temumanyi nti buli ekiyingira mu kamwa kiyita mu lubuto ne kifuluma? 18  Naye, ebyo ebifuluma mu kamwa biva mu mutima era bye byonoona omuntu.+ 19  Ng’ekyokulabirako, mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi,+ obutemu, obwenzi, ebikolwa eby’obugwenyufu,* obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola. 20  Ebyo bye byonoona omuntu, naye omuntu okulya nga tanaabye mu ngalo* tekimwonoona.” 21  Yesu n’avaayo, n’agenda mu bitundu by’e Ttuulo ne Sidoni.+ 22  Laba! omukazi Omufoyiniikiya ow’omu bitundu ebyo n’ajja, n’ayogerera waggulu nti: “Nsaasira Mukama wange, Omwana wa Dawudi. Muwala wange atawaanyizibwa dayimooni.”+ 23  Naye n’atamuddamu kigambo kyonna. Abayigirizwa be ne bajja ne bamugamba nti: “Mugambe agende kubanga atuleekaanira.” 24  N’addamu nti: “Saatumibwa walala wonna wabula eri endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.”+ 25  Naye omukazi n’asembera, n’amuvunnamira, n’amugamba nti: “Mukama wange, nnyamba!” 26  N’amuddamu nti: “Tekiba kituufu okuddira emmere y’abaana n’ogisuulira obubwa obuto.” 27  Omukazi n’amuddamu nti: “Yee ssebo, naye obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.”+ 28  Yesu n’amugamba nti: “Mukazi ggwe, okukkiriza kwo kwa maanyi nnyo; ka kibeere nga bw’oyagala.” Muwala we n’awona mu kiseera ekyo. 29  Yesu bwe yava eyo, n’agenda okumpi n’Ennyanja ey’e Ggaliraaya,+ n’ayambuka ku lusozi n’atuula eyo. 30  Ekibiina ky’abantu ne kijja gy’ali nga baleese abalema, abaliko obulemu, abazibe b’amaaso, abatayogera, n’abalwadde abalala bangi, ne babateeka kumpi n’ebigere bye, n’abawonya.+ 31  Abantu ne beewuunya nnyo bwe baalaba abaali batayogera nga boogera, abalema nga batambula, abaliko obulemu nga bawonye, n’abazibe b’amaaso nga balaba, era ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.+ 32  Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti: “Abantu bano mbasaasira,+ kubanga kati ziweze ennaku ssatu nga bali nange, naye nga tebalina kya kulya; era saagala kubasiibula nga tebalina kye balidde. Bayinza okugwa ku kkubo.”+ 33  Naye abayigirizwa ne bamugamba nti: “Mu kifo kino ekyesudde, tunaggya wa emigaati egimala okukkusa abantu bano bonna?”+ 34  Yesu n’abagamba nti: “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamugamba nti: “Musanvu, era n’obwennyanja butono.” 35  Awo oluvannyuma lw’okugamba abantu okutuula wansi, 36  Yesu yakwata emigaati omusanvu n’obwennyanja, ne yeebaza, n’abimenyamu, n’abiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne babigabira abantu.+ 37  Bonna ne balya ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obutundutundu obwafikkawo ne bajjuza ebisero ebinene musanvu.+ 38  Abo abaalya baali abasajja 4,000 nga tobaliddeeko bakazi na baana. 39  Bwe yamala okusiibula abantu, n’alinnya eryato n’agenda mu bitundu by’e Magadani.+

Obugambo Obuli Wansi

Kuno tekwali kunaaba ngalo eziddugala, naye kwali kutuukiriza kalombolombo k’Abayudaaya ak’okwetukuza.
Mu Luyonaani por·neiʹa. Laba Awanny.
Laba obugambo obuli wansi ku Mat 15:2.