Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Malaki 4:1-6

EBIRIMU

  • Eriya ajja ng’olunaku lwa Yakuwa terunnatuuka (1-6)

    • ‘Enjuba ey’obutuukirivu eryaka’ (2)

4  “Laba! olunaku lujja, olwokya ng’ekyoto mwe basaanuusiza ebyuma,+ era abo bonna abeetulinkiriza n’abo bonna abakola ebintu ebibi baliba ng’ebisubi. Olunaku olujja lulibasaanyaawo era terulibalekerawo mulandira wadde ettabi,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.  “Naye mmwe abatya erinnya lyange,* enjuba ey’obutuukirivu eribaakira ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo; mulirigita ng’ennyana ezinyirira.”  “Mulirinnyirira ababi, kubanga balifuuka ng’enfuufu wansi w’ebigere byammwe ku lunaku lwe ndikola ekyo,” Yakuwa ow’eggye bw’agamba.  “Mujjukire Amateeka g’omuweereza wange Musa, kwe kugamba, ennamula n’ebiragiro bye nnamuwa ku Kolebu Isirayiri yonna ebigondere.+  “Laba! Mbatumira nnabbi Eriya+ ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa terunnatuuka.+  Alizza emitima gya bakitaabwe b’abaana eri abaana baabwe,+ n’emitima gy’abaana eri bakitaabwe, nneme okujja nnyonoone ensi era ngizikirize.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “abawa erinnya lyange ekitiibwa.”