Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Lukka 24:1-53

EBIRIMU

  • Okuzuukizibwa kwa Yesu (1-12)

  • Ku luguudo olugenda e Emawo (13-35)

  • Yesu alabikira abayigirizwa be (36-49)

  • Yesu ayambuka mu ggulu (50-53)

24  Kyokka, ku lunaku olusooka mu wiiki, baagenda ku ntaana ku makya ennyo nga balina eby’akaloosa bye baali bateeseteese.+  Naye ne basanga ng’ejjinja liyiringisiddwa okuva ku ntaana,+  era bwe baayingiramu, omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu.+  Bwe baali bakyasobeddwa olw’ekyo, laba! abasajja babiri abaali bambadde engoye ezaakaayakana ne bayimirira we baali.  Abakazi ne batya era ne bakoteka emitwe; awo abasajja kwe kubagamba nti: “Lwaki munoonya omulamu mu bafu?+  Taliiwo wano, yazuukiziddwa. Mujjukire bwe yabagamba ng’akyali nammwe e Ggaliraaya nti,  Omwana w’omuntu ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’aboonoonyi akomererwe ku muti, naye ku lunaku olw’okusatu azuukire.”+  Awo ne bajjukira ebigambo bye,+  ne bava ku ntaana, ne bagenda ne babuulira Ekkumi n’Omu n’abalala bonna ebintu ebyo byonna.+ 10  Abaabuulira abatume baali: Maliyamu Magudaleena, Yowaana, ne Maliyamu maama wa Yakobo, era n’abakazi abalala abaali nabo. 11  Naye ebigambo ebyo byabawulikikira ng’ebitaliimu nsa era ne batakkiriza abakazi abo. 12  Naye Peetero n’ayimuka, n’adduka n’agenda ku ntaana, era bwe yalingiza yalabamu ngoye za kitaani zokka. N’agenda nga yeewuunya ekyali kibaddewo. 13  Naye ku lunaku olwo lwennyini, abayigirizwa babiri baali bagenda mu kyalo ekiyitibwa Emawo ekyali mayiro nga musanvu* okuva e Yerusaalemi, 14  era baali boogera ku bintu ebyo byonna ebyali bibaddewo. 15  Bwe baali banyumya era nga bakubaganya ebirowoozo, Yesu n’abegattako n’atandika okutambula nabo, 16  naye ne batamutegeera.+ 17  N’abagamba nti: “Biki ebyo bye mwogerako nga mutambula?” Ne bayimirira nga banakuwadde. 18  Omu ku bo ayitibwa Kulewopasi n’amugamba nti: “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atalina b’obeera nabo olyoke obe nga tomanyi* bintu bibaddeyo mu nnaku zino?” 19  N’ababuuza nti: “Bintu ki?” Ne bamuddamu nti: “Ebintu ebikwata ku Yesu Omunnazaaleesi,+ eyali nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga mu maaso ga Katonda n’ag’abantu bonna;+ 20  n’engeri bakabona baffe abakulu n’abafuzi gye baamuwaayo okuttibwa+ era ne bamukomerera ku muti. 21  Naye twali tusuubira nti omusajja oyo ye yali agenda okununula Isirayiri.+ Ate ng’ebyo byonna obitadde ku bbali, luno lwe lunaku olw’okusatu bukya ebintu bino bibaawo. 22  Ate era waliwo abakazi abamu mu ffe abaatwewuunyisizza, kubanga baagenze ku ntaana ku makya ennyo+ 23  era bwe bataasanzeeyo mulambo gwe, bazze ne bagamba nti baalabye bamalayika abaabagambye nti mulamu. 24  Abamu ku abo abaabadde naffe baagenze ku ntaana+ ne basanga nga byonna biri ddala bwe bityo ng’abakazi bwe baagambye, naye ye tebaamulabye.” 25  N’abagamba nti: “Mmwe abasirusiru era ab’emitima egirwawo okukkiriza ebintu byonna bannabbi bye baayogera! 26  Kristo teyalina kubonyaabonyezebwa+ alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”+ 27  N’abannyonnyola ebintu ebyali bimwogerwako mu Byawandiikibwa byonna ng’atandikira ku ebyo ebyawandiikibwa Musa ne bannabbi bonna.+ 28  Bwe baali bali kumpi okutuuka ku kyalo gye baali balaga, ye n’alabika ng’akyeyongerayo. 29  Naye ne bamwegayirira asigale, nga bagamba nti: “Sula ewaffe kubanga obudde bunaatera okuwungeera.” Awo n’agenda asule ewaabwe. 30  Bwe yali alya nabo,* n’akwata omugaati, n’asaba, n’agumenyamu n’atandika okubagabira.+ 31  Awo amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bamutegeera; naye n’ababulako.+ 32  Ne bagambagana nti: “Emitima gyaffe tegyakwatiddwako nnyo bwe yabadde ng’ayogera naffe mu kkubo era ng’atunnyonnyola* Ebyawandiikibwa?” 33  Mu kiseera ekyo kyennyini ne basituka ne baddayo e Yerusaalemi, ne basanga Ekkumi n’Omu n’abo abaali bakuŋŋaanye nabo, 34  ne babagamba nti: “Mazima ddala Mukama waffe yazuukidde era yalabikidde Simooni!”+ 35  Awo nabo ne bababuulira ebyali bibaddewo mu kkubo, era nga bwe baali bamutegeeredde ku kumenyaamenyamu omugaati.+ 36  Bwe baali nga bakyayogera ku bintu ebyo, n’ajja n’ayimirira wakati waabwe n’abagamba nti: “Emirembe gibe nammwe.”+ 37  Naye olw’okuba baali bakubiddwa encukwe era nga batidde nnyo, baalowooza nti balaba kitonde kya mwoyo. 38  Awo n’abagamba nti: “Lwaki mweraliikirira, era lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe? 39  Mulabe ebibatu byange n’ebigere byange mukakase nti ye nze; munkwateko mulabe kubanga ekitonde eky’omwoyo tekiba na nnyama na magumba nga bye mulaba nze bye nnina.” 40  Ebyo yabyogera nga bw’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye. 41  Bwe baali nga tebannakkiriza olw’essanyu eringi n’olw’okwewuunya ennyo, n’abagamba nti: “Mulinawo ku ky’okulya?” 42  Awo ne bamuwa ekitundutundu ky’ekyennyanja ekikalirire, 43  n’akikwata, n’akirya nga balaba. 44  Awo n’abagamba nti: “Bino bye bigambo bye nnabagamba nga nkyali nammwe,+ nti byonna ebyampandiikibwako mu Mateeka ga Musa ne mu biwandiiko bya Bannabbi ne mu Zabbuli biteekwa okutuukirira.”+ 45  Awo n’aggula ebirowoozo byabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa,+ 46  era n’abagamba nti: “Bwe kityo bwe kyawandiikibwa nti Kristo wa kubonyaabonyezebwa era azuukizibwe mu bafu ku lunaku olw’okusatu,+ 47  era nti mu linnya lye, obubaka obw’okwenenya okusobola okusonyiyibwa ebibi+ bwa kubuulirwa mu mawanga gonna+—okutandikira mu Yerusaalemi.+ 48  Muli ba kuba bajulirwa ba bintu bino.+ 49  Era laba! ŋŋenda kubaweereza ekyo Kitange kye yasuubiza. Kyokka musigale mu kibuga okutuusa lwe mulifuna amaanyi okuva waggulu.”+ 50  Awo n’abatwala e Bessaniya, n’ayimusa emikono gye n’abawa omukisa. 51  Bwe yali abawa omukisa, n’abaggibwako, n’atwalibwa mu ggulu.+ 52  Ne bamuvunnamira, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyufu nnyo.+ 53  Ne babeeranga mu yeekaalu buli lunaku nga batendereza Katonda.+

Obugambo Obuli Wansi

Kilomita nga 11. Obut., “sitadiya 60.” Sitadiya yali yenkana mita 185 (ffuuti 606.95). Laba Ebyong. B14.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Gwe mugenyi wekka mu Yerusaalemi atamanyi.”
Oba, “atudde nabo ku mmeeza.”
Obut., “ng’atubikkulira.”