Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Koseya 5:1-15

EBIRIMU

  • Efulayimu ne Yuda bisalirwa omusango (1-15)

5  “Muwulire kino mmwe bakabona,+Musseeyo omwoyo mmwe ennyumba ya Isirayiri,Mutege okutu mmwe ennyumba ya kabaka,Kubanga omusango gukwata ku mmwe;Mufuuse mutego e Mizupa,Era mufuuse kitimba ekyategebwa ku Taboli.+   Abajeemu beenyigidde nnyo mu kutta ensolo,*Era bonna mbalabula.*   Efulayimu mmumanyi,Era Isirayiri tankisiddwa. Ggwe Efulayimu weebase n’abasajja bangi;*Isirayiri yeeyonoonye.+   Ebikolwa byabwe tebibaganya kudda eri Katonda waabwe,Kubanga omwoyo gw’obwamalaaya gubalimu;+Era tebakitwala nti nze Yakuwa nze Katonda waabwe.   Amalala ga Isirayiri gamuwaddeko obujulizi;+Isirayiri ne Efulayimu bagudde olw’okwonoona kwabwe,Ne Yuda naye agudde nabo.+   Baagenda n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe okunoonya Yakuwa,Naye tebaamuzuula. Yali abavuddeko.+   Bakuusakuusizza Yakuwa,+Kubanga bazadde abaana abagwira. Bajja kumalibwawo mu mwezi gumu awamu n’ebintu byabwe.*   Mufuuwe eŋŋombe+ mu Gibeya, era mufuuwe ekkondeere mu Laama!+ Mulaye enduulu z’olutalo e Besi-aveni.+ Tukugoberera ggwe Benyamini.   Ggwe Efulayimu olifuuka ekintu eky’entiisa ku lunaku olw’okubonerezebwako.+ Nnangiridde ekinaabaawo mu bika bya Isirayiri. 10  Abaami b’omu Yuda bafuuse ng’abo abajjulula ensalosalo.+ Ndibafukako obusungu bwange ng’afuka amazzi. 11  Efulayimu abonyaabonyezebwa era anyigirizibwa omusango ogumusaliddwa,Kubanga yali mumalirivu okugoberera omulabe we.+ 12  Nnali ng’ekiwuka eri Efulayimu,Era nnali ng’okuvunda eri ennyumba ya Yuda. 13  Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe ne Yuda n’alaba ebbwa lye,Efulayimu n’agenda e Bwasuli+ era n’atuma ababaka eri kabaka ow’amaanyi. Naye teyasobola kubavumula,Era teyasobola kuwonya bbwa lyammwe. 14  Ndibeera ng’empologoma envubuka eri Efulayimu,Era ndibeera ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda. Nze kennyini ndibayuzaayuza ne ŋŋenda;+Ndibatwala, era tewaliba abanunula.+ 15  Ndigenda ne nzirayo gye mbeera okutuusa lwe balimalako ekibonerezo kyabwe;Balinnoonya mbalage ekisa.*+ Bwe baliba mu mbeera enzibu balinnoonya.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mu kutta abantu.”
Oba, “nja kubabonereza.”
Oba, “okoze obwamalaaya.”
Oba, “n’ennimiro zaabwe.”
Obut., “Balinoonya obwenyi bwange.”