Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Isaaya 6:1-13

EBIRIMU

  • Mu kwolesebwa alaba Yakuwa ng’ali mu yeekaalu ye (1-4)

    • “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa” (3)

  • Emimwa gya Isaaya girongoosebwa (5-7)

  • Isaaya atumibwa (8-10)

    • “Nzuuno! Ntuma!” (8)

  • “Kiriba bwe kityo kumala bbanga ki, Ai Yakuwa?” (11-13)

6  Mu mwaka Kabaka Uzziya mwe yafiira,+ nnalaba Yakuwa ng’atudde ku ntebe empanvu era engulumivu,+ era ekirenge ky’ekyambalo kye kyali kibunye yeekaalu.  Basseraafi baali bayimiridde waggulu we. Buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bimubisse mu maaso, ebibiri nga bibisse ku bigere bye, ate ng’ebibiri abikozesa okubuuka.   Ne bagambagana nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa ow’eggye.+ Ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”  Emyango gyakankana olw’amaloboozi ago,* era ennyumba n’ejjula omukka.+   Awo ne ŋŋamba nti: “Zinsanze! Nfudde nze,*Kubanga ndi muntu alina emimwa egitali mirongoofu,Era mbeera mu bantu abalina emimwa egitali mirongoofu;+Amaaso gange galabye Kabaka, Yakuwa ow’eggye yennyini!”  Awo omu ku basseraafi n’abuuka n’ajja we nnali, era yali akutte mu mukono gwe eryanda+ lye yali aggye ku kyoto+ ng’akozesa ekitoola omuliro.  N’alikoonya ku mimwa gyange n’agamba nti: “Laba! Lino likoonye ku mimwa gyo. Oggiddwako omusango,Era ekibi kyo kitangiriddwa.”  Awo ne mpulira eddoboozi lya Yakuwa ng’agamba nti: “Nnaatuma ani, era ani anaatukiikirira?”+ Ne ŋŋamba nti: “Nzuuno! Ntuma!”+   N’aŋŋamba nti, “Genda ogambe abantu abo nti: ‘Mujja kuwulira enfunda n’enfunda,Naye temujja kutegeera;Mujja kulaba enfunda n’enfunda,Naye tewali kye mujja kumanya.’+ 10  Gubya omutima gw’abantu bano,+Ggala amatu gaabwe,+Era ziba amaaso gaabwe,Baleme okulaba n’amaaso gaabweEra baleme okuwulira n’amatu gaabwe,Omutima gwabwe guleme okutegeeraBaleme okukyuka bawonyezebwe.” 11  Awo ne ŋŋamba nti: “Kiriba bwe kityo kumala bbanga ki, Ai Yakuwa?” N’anziramu nti: “Okutuusa ng’ebibuga bizikiriziddwa era nga tewali abibeeramuNga n’amayumba tegaliimu bantuEra nga n’ensi eyonooneddwa, ng’efuuse matongo;+ 12  Okutuusa Yakuwa lw’alitwala abantu ewala ennyo+Era okutuusa ng’ebitundu bingi eby’ensi tebiriimu bantu. 13  “Naye ensi erisigalamu ekitundu kimu eky’ekkumi, era eriddamu okwokebwa, ng’omuti omunene era ng’omuyovu, ebitemebwa ekikolo kyabyo ne kisigalawo; ensigo* entukuvu eribeera ekikolo kyayo.”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “olw’eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.”
Obut., “Nsirisiddwa.”
Oba, “ezzadde.”