Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Isaaya 57:1-21

EBIRIMU

  • Omutuukirivu n’abeesigwa bazikirira (1, 2)

  • Obwenzi bwa Isirayiri obw’eby’omwoyo bwogerwako (3-13)

  • Ebigambo ebibudaabuda abanakuwavu (14-21)

    • Ababi balinga ennyanja esiikuuse (20)

    • Ababi tebalina mirembe (21)

57  Omutuukirivu azikiridde,Naye tewali afuddeyo. Abantu abeesigwa baggibwawo,*+Ne wataba muntu yenna akitegeera nti omutuukirivu aggiddwawoAleme kutuukibwako kabi.   Ayingira mu mirembe. Abo bonna abatambulira mu bugolokofu bagalamira mu ntaana zaabwe.*   “Naye mmwe musembere,Mmwe abaana b’omukazi omulogo,Mmwe abaana b’omwenzi era malaaya:   Ani gwe musekerera? Ani gwe mwasamiza akamwa era ne mumusowolera olulimi? Temuli baana ba kwonoona,Abaana b’obulimba,+   Abo abeemalidde ku kuweereza bakatonda ab’obulimba mu miti eminene,+Wansi wa buli muti ogulina ebikoola ebingi,+Abattira abaana mu biwonvu,+Mu mpompogoma z’enjazi?   Olonzeewo amayinja amaweweevu ag’omu kiwonvu.+ Ago gwe mugabo gwo. Ogafukira ebiweebwayo eby’eby’okunywa era owaayo ebirabo gye gali.+ Ebyo biyinza okunsanyusa?   Wayala ekitanda kyo ku lusozi oluwanvu era olugulumivu,+N’oyambuka eyo okuwaayo ssaddaaka.+   Oteeka ekijjukizo kyo emabega w’oluggi n’omwango. Wandeka ne weeyambula;Wayambuka n’ogaziya ekitanda kyo. Wakola nabo endagaano. Wayagala okwebaka nabo ku kitanda kyabwe,+Era watunuulira ebitundu by’omusajja eby’ekyama.*   Wagenda eri Mereki* ng’olina amafutaEra ng’olina eby’akaloosa bingi. Watuma ababaka bo ewala,Bw’otyo n’okka emagombe.* 10  Wategana nnyo ng’otambulira mu makubo go amangi,Naye tewagamba nti, ‘Tekigasa!’ Waddamu okufuna amaanyi. Ye nsonga lwaki tolekera awo.* 11  Ani gwe watya era n’otekemukaOlyoke otandike okulimba?+ Tewanzijukira.+ Tewafaayo.+ Saasirika era ne sibaako kye njogera?+ Kyewava olaga nti tontya. 12  Nja kumanyisa obutuukirivu bwo+ obw’obukuusa n’ebikolwa byo,+Era tebijja kukugasa.+ 13  Bw’onoosaba obuyambi,Ebifaananyi byo bye wakuŋŋaanya tebijja kukuyamba.+ Byonna empewo ejja kubitwala,Omukka obukka ogussibwa gujja kubifuumuula,Naye oyo addukira gye ndi ajja kusikira ensiEra ajja kubeera ku lusozi lwange olutukuvu.+ 14  Kijja kugambibwa nti, ‘Mukole oluguudo, Mukole oluguudo! Muteeketeeke ekkubo!+ Muggye emisanvu mu kkubo ly’abantu bange.’” 15  Kubanga bw’ati Oyo Ali Waggulu era Agulumidde bw’agamba,Oyo abeerawo emirembe n’emirembe+ era alina erinnya ettukuvu:+ “Mbeera mu kifo ekya waggulu era ekitukuvu,+Kyokka era mbeera n’abo abanyigirizibwa* era abeetoowaze,Okuzza obuggya omwoyo gw’abanaku,N’okuzza obuggya omutima gw’abo abanyigirizibwa.*+ 16  Kubanga siribalwanyisa mirembe gyonnaEra sirisigala nga ndi musunguwavu ekiseera kyonna;+Kubanga omwoyo gw’omuntu guyinza okunafuwa olw’okubeera nze,+Era n’ebitonde ebissa omukka bye nnakola. 17  Nnamusunguwalira olw’okuba yeenoonyeza ebintu mu makubo amakyamu,+Kyennava mmukuba, ne mmwekweka, era ne nsunguwala. Naye yeeyongera kweyisa nga kyewaggula,+ ng’atambulira mu kkubo ly’omutima gwe. 18  Ndabye amakubo ge,Naye nja kumuwonya+ era mmukulembere,+Nja kuddamu okumubudaabuda,+ awamu n’ababe abakungubaga.”+ 19  “Ntonda ekibala ky’emimwa. Emirembe egitaggwaawo gijja kuweebwa oyo ali ewala n’oyo ali okumpi,”+ Yakuwa bw’agamba,“Era nja kumuwonya.” 20  “Kyokka ababi balinga ennyanja esiikuuse etasobola kuteeka,Amazzi gaayo gafuukuula omuddo gw’omu nnyanja n’ebitosi. 21  Ababi tebalina mirembe,”+ Katonda wange bw’agamba.

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, bafa.
Obut., “ku bitanda byabwe.”
Kiyinza okuba kitegeeza okusinza ebifaananyi.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “kabaka.”
Laba Awanny.
Obut., “tokoowa.”
Oba, “abeenenyezza.”
Oba, “abeenenyezza.”