Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Isaaya 49:1-26

EBIRIMU

  • Omulimu Yakuwa gw’awa omuweereza we (1-12)

    • Ekitangaala eri amawanga (6)

  • Ebigambo ebibudaabuda Isirayiri (13-26)

49  Mumpulirize mmwe ebizinga,Musseeyo omwoyo mmwe amawanga agali ewala.+ Yakuwa yampita nga sinnazaalibwa.*+ Yayogera ku linnya lyange nga nkyali mu lubuto lwa mmange.   Akamwa kange yakafuula ng’ekitala ekyogi;Yankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe.+ Yanfuula ng’akasaale akazigule;Yankweka mu nsawo ye ey’obusaale.   Yaŋŋamba nti: “Ggwe Isirayiri, oli muweereza wange,+Gwe ndiyitiramu okwoleka ekitiibwa kyange.”+   Naye nnagamba nti: “Nnateganira bwereere. Amaanyi gange nnagoonoonera ku kintu ekitaliimu, nnagoonoonera bwereere. Naye Oyo annamula ye Yakuwa,*Era Katonda y’ampa empeera yange.”+   Yakuwa eyammumba mu lubuto okuba omuweereza we,Yaŋŋamba mmukomezeewo Yakobo,Isirayiri asobole okukuŋŋaanyizibwa gy’ali.+ Ndigulumizibwa mu maaso ga Yakuwa,Era Katonda wange aliba afuuse maanyi gange.   Era yagamba nti: “Tekimala ggwe okuba omuweereza wangeOkuzzaawo ebika bya YakoboN’okukomyawo Abayisirayiri abaawonawo. Nkuwaddeyo okuba ekitangaala eri amawanga,+Obulokozi bwange busobole okutuuka ensi gy’ekoma.”+  Bw’ati Yakuwa, Omununuzi wa Isirayiri, Omutukuvu we,+ bw’agamba oyo anyoomebwa,+ oyo akyayibwa eggwanga, omuweereza w’abafuzi: “Bakabaka baliraba ne bayimuka,N’abaami balivunnamaOlwa Yakuwa omwesigwa,+Omutukuvu wa Isirayiri eyakulonda.”+   Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mu kiseera mwe nnalagira ekisa, nnakwanukula+Ku lunaku olw’obulokozi nnakuyamba;+Nnakukuuma okukuwaayo ng’endagaano eri abantu,+Okuzzaawo ensi,Okubasobozesa okuddamu okubeera mu busika bwabwe obwali bwasigala amatongo,+   Okugamba abasibe nti, ‘Mufulume!’+ N’abo abali mu kizikiza nti,+ ‘Mweyoleke!’ Baliriira ku nguudo;Ku mabbali g’amakubo gonna* kulibaako amalundiro gaabwe. 10  Tebalirumwa njala wadde ennyonta,+Tebaliwulira bbugumu lya maanyi, era omusana tegulibookya.+ Kubanga Oyo abasaasira alibakulembera,+Alibatwala awali ensulo z’amazzi.+ 11  Ensozi zange zonna ndizifuula luguudo,Era enguudo zange ennene zirigulumira.+ 12  Laba! Bano bava wala nnyo,+Era laba! bano bava bukiikakkono ne mu bugwanjuba,Na bano bava mu nsi y’e Sinimu.”+ 13  Leekaana olw’essanyu, ggwe eggulu; sanyuka, ggwe ensi.+ Ensozi ka zijaganye era zoogerere waggulu n’essanyu.+ Kubanga Yakuwa agumizza abantu be,+Era asaasira abantu be ababonaabona.+ 14  Naye Sayuuni yagamba nti: “Yakuwa anjabulidde,+ era Yakuwa anneerabidde.”+ 15  Omukazi ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsaOba ayinza obutakwatirwa kisa omwana gw’azaala? Abakazi bano ne bwe beerabira, nze sirikwerabira.+ 16  Laba! Nkwoze mu bibatu byange. Ebisenge byo biri mu maaso gange bulijjo. 17  Abaana bo banguwa okuddayo. Abo abaakuzikiriza ne bakufuula matongo balikuleka. 18  Yimusa amaaso go otunule ku njuyi zonna. Bonna bakuŋŋaana wamu.+ Bajja gy’oli. Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mazima ddala nga bwe ndi omulamu,Olibambala bonna ng’amajolobero,Era olibeesiba ng’omugole bw’akola. 19  Wadde ng’ebifo byo byayonoonebwa ne bizika, n’ensi yo n’efuuka matongo,+Erifuuka nfunda nnyo eri abo abaligibeeramu,+Era abo abaakumira+ baliba wala nnyo.+ 20  Abaana abalizaalibwa ng’omaze okufiirwa abaana bo balyogera ng’owulira nti,‘Ekifo kino mwe tuli kifunze nnyo. Tufunire aw’okubeera.’+ 21  Era olyogera mu mutima gwo nti,‘Ani kitaawe w’abaana bano abampeebwa,Okuva bwe kiri nti nze nnafiirwa abaana era ndi mugumba,Era nga nnatwalibwa mu buwaŋŋanguse era ne nsibibwa mu kkomera? Bano ani yabakuza?+ Laba! Nnasigala bw’omu,+Kati olwo bano bavudde wa?’”+ 22  Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Laba! Ndigololera amawanga omukono gwange,Era ndiwanikira amawanga akabonero.*+ Balireeta batabani bo nga babasitudde mu mikono gyabwe*Era bawala bo balibasitulira ku bibegaabega byabwe.+ 23  Bakabaka balikulabirira,+N’abambejja baabwe balikulera. Balikuvunnamira obwenyi bwabwe ne butuukira ddala ku ttaka+Ne bakomba enfuufu y’oku bigere byo;+Olwo olimanya nti nze Yakuwa. Abo abateeka essuubi lyabwe mu nze tebaliswala.”+ 24  Abo abaawambibwa basobola okuggibwa mu mukono gw’omusajja ow’amaanyi? Oba abo abaawambibwa omuntu omukambwe basobola okununulibwa? 25  Naye bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Abo abaawambibwa omusajja ow’amaanyi baliteebwa,+N’abo abaawambibwa omuntu omukambwe balinunulibwa.+ Ndirwanyisa abo abakulwanyisa,+Era ndirokola abaana bo. 26  Abo abakubonyaabonya ndibaliisa ennyama yaabwe,Era balitamiira omusaayi gwabwe ng’omuntu bw’atamiira omwenge oguwoomerera. Era abantu bonna balimanya nti nze Yakuwa,+Omulokozi wo+ era Omununuzi wo,+Katonda ow’Amaanyi owa Yakobo.”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “okuva mu lubuto.”
Oba, “Yakuwa ajja kunnamula mu bwenkanya.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “g’obusozi bwonna obutaliiko bimera.”
Oba, “ekikondo.”
Obut., “kifuba kyabwe.”