Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Isaaya 41:1-29

EBIRIMU

  • Awangula amawanga ava buvanjuba (1-7)

  • Isirayiri yalondebwa okuba omuweereza wa Katonda (8-20)

    • “Ibulayimu mukwano gwange” (8)

  • Bakatonda abalala basoomoozebwa (21-29)

41  “Musirike mumpulirize* mmwe ebizinga;Amawanga ka gaddemu okufuna amaanyi. Ka gasembere googere.+ Ka tukuŋŋaane wamu wabeewo okusala omusango.   Ani alina gw’ayimusizza okuva ebuvanjuba,+N’amuyita mu butuukirivu okujja awali ebigere bye,*Okuwaayo amawanga gy’aliN’okumusobozesa okuwangula bakabaka?+ Ani abafuula enfuufu mu maaso g’ekitala kye,Abafuula ng’ebisubi ebifuumuulibwa embuyaga mu maaso g’omutego gwe ogw’obusaale?   Abagoba era tafuna kuziyizibwa kwonnaNg’ayita mu makubo ebigere bye mwe bitayitanga.   Ani akoze kino,Ayita ab’emirembe egy’enjawulo okuva ku lubereberye? Nze Yakuwa, nze ow’Olubereberye;+N’eri ab’oluvannyuma, sikyuka.”+   Ebizinga bikirabye ne bitya. Ebitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala byatandika okukankana. Abantu bajja ne basembera.   Buli omu ayamba munneEra n’agamba muganda we nti: “Beera mugumu.”   Omukozi azzaamu omuweesi amaanyi;+Oyo abyabyataza ng’akozesa ennyondoAzzaamu amaanyi oyo akubirakubira ku luyijja. Ayogera ku kugattibwa kw’ebyuma nti: “Kulungi.” Awo ne kikomererwa n’emisumaali kireme kugwa.   “Naye ggwe Isirayiri, oli muweereza wange,+Ggwe Yakobo gwe nnalonda,+Ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,+   Ggwe gwe nnaggya eyo ensi gy’ekoma,+Era ggwe gwe nnayita okuva mu bitundu byayo ebisingayo okuba ewala. Nnakugamba nti, ‘Oli muweereza wange;+Nnakulonda; sikusuulanga.+ 10  Totya, kubanga ndi naawe.+ Teweeraliikirira, kubanga nze Katonda wo.+ Nja kukuwa amaanyi era nja kukuyamba,+Nja kukuwanirira n’omukono gwange ogwa ddyo ogw’obutuukirivu.’ 11  Laba! Abo bonna abakusunguwalira bajja kuswazibwa era bajja kufeebezebwa.+ Abo abakulwanyisa bajja kumalibwawo era bajja kuzikirira.+ 12  Ojja kunoonya abantu abalwana naawe naye tojja kubalaba;Abantu abakulwanyisa bajja kuba ng’ekintu ekitaliiwo, ng’ekintu ekitaliimu nsa.+ 13  Kubanga nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo,Nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’+ 14  Totya, ggwe Yakobo olusiriŋŋanyi,*+Mmwe abantu ba Isirayiri, nja kubayamba,” bw’agamba Yakuwa Omununuzi wammwe,+ Omutukuvu wa Isirayiri. 15  “Laba! Nkufudde ekyuma ekiwuula,+Ekyuma ekiwuula ekipya ekirina amannyo ku njuyi zombi. Ojja kulinnyirira ensozi ozibetenteEra obusozi ojja kubufuula ng’ebisusunku. 16  Ojja kubiwewa,Empewo ebitwale;Embuyaga ejja kubisaasaanya. Ojja kusanyukira mu Yakuwa,+Era ojja kwenyumiririza mu Mutukuvu wa Isirayiri.”+ 17  “Omunaku n’omwavu banoonya amazzi, naye tegaliiwo. Olulimi lwabwe lukaze olw’ennyonta.+ Nze Yakuwa nja kubaanukula.+ Nze Katonda wa Isirayiri sijja kubaabulira.+ 18  Nja kukulukusiza emigga ku busozi obutaliiko bimera+N’ensulo mu nsenyi.+ Eddungu nja kulifuula kidiba ky’amazziN’ensi enkalu nja kugifuula nsulo za mazzi.+ 19  Nja kusimba mu ddungu omuti gw’entolokyo,N’omuti gwa sita n’omukadasi n’omuti oguvaamu amafuta.+ Nja kusimba mu ddungu omuti gw’omuberosi,Wamu n’omutidali n’omuteyasi,+ 20  Abantu bonna balyoke balabe era bamanyeBasseeyo omwoyo era bategeereNti omukono gwa Yakuwa gwe gukoze kino,Era nti Omutukuvu wa Isirayiri y’akireese.”+ 21  “Mwanje ensonga zammwe,” Yakuwa bw’agamba. “Muleete obukakafu,” Kabaka wa Yakobo bw’agamba. 22  “Muleete obukakafu mutubuulire ebiribaawo. Mutubuulire ebikwata ku bintu eby’edda,*Tubirowoozeeko* tumanye ebiribaawo. Oba mutubuulire ebintu ebigenda okubaawo.+ 23  Mutubuulire ebiribaawo mu biseera eby’omu maaso,Tulyoke tumanye nti muli bakatonda.+ Mubeeko kye mukolawo, ekirungi oba ekibi,Tuwuniikirire nga tukirabye.+ 24  Laba! Muli kintu ekitaliiwo,Era bye mukola tebiriimu nsa.+ Oyo yenna abalondawo mmwe wa muzizo.+ 25  Nnyimusizza omuntu okuva ebukiikakkono era ajja kujja,+Oyo ava ebuvanjuba+ ajja kukoowoola erinnya lyange. Ajja kulinnyirira abafuzi ng’alinnyirira ebbumba,+Ng’omubumbi bw’alinnyirira ebbumba ebbisi. 26  Kino ani yakyogerako okuva ku lubereberye tusobole okumanya,Oba okuva mu biseera eby’edda tusobole okugamba nti, ‘Mutuufu’?+ Mazima ddala tewali n’omu yakirangirira! Tewali n’omu yakyogerako! Tewali yali awuliddeko kintu kuva gye muli!”+ 27  Nze nnasooka okugamba Sayuuni nti: “Laba ebigenda okubaawo!”+ Era ndisindika e Yerusaalemi oyo alina amawulire amalungi.+ 28  Nnakanda kutunula naye nga tewali n’omu;Era mu bo temwalimu muwi wa magezi n’omu. Nnabagambanga babeeko kye baddamu. 29  Laba! Bonna butaliimu.* Bye bakola tebiriimu nsa. Ebifaananyi byabwe eby’ekyuma* mpewo buwewo era tebirina mugaso.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Musirike mu maaso gange.”
Kwe kugamba, okuweereza Katonda.
Kwe kugamba, atalina mwasirizi era omunaku.
Obut., “ebyasooka.”
Oba, “Tubisseeko omutima.”
Oba, “kintu ekitaliiwo.”
Oba, “ebisaanuuse.”