Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Isaaya 32:1-20

EBIRIMU

  • Kabaka n’abaami balifuga okuleetawo obwenkanya obwa nnamaddala (1-8)

  • Abakazi abateefiirayo balabulwa (9-14)

  • Emikisa egirifunibwa ng’omwoyo gufukiddwa (15-20)

32  Laba! Kabaka+ alifuga okuleetawo obutuukirivu,+N’abaami balifuga okuleetawo obwenkanya.   Era buli omu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga,Ng’ekifo eky’okweggamamu* enkuba ey’amaanyi,Aliba ng’emigga mu nsi etaliimu mazzi,+Ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi enkalu.   Mu kiseera ekyo, amaaso g’abo abalaba tegalizibirira nate,N’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.   Omutima gw’abo abapakuka gulifumiitiriza ku kumanya,N’olulimi olunanaagira lulyogera bulungi era mu ngeri etegeerekeka.+   Omusirusiru aliba takyayitibwa mugabi,N’omuntu ow’empisa embi taliyitibwa wa kitiibwa;   Kubanga omusirusiru alyogera eby’obusirusiru,Era omutima gwe guligunja ebintu eby’akabi,+Okwogera ebintu ebitali bituufu ku Yakuwa n’okuleetera abalala okwewaggula,Okuleka omuyala okugenda enjala,N’okumma alumwa ennyonta eky’okunywa.   Ebintu omuntu ow’empisa embi by’ateekateeka bibi;+Aleetera abalala okwenyigira mu bikolwa eby’obuswavuOkwonoona omunaku ng’ayogera eby’obulimba,+Omwavu ne bw’ayogera ekituufu.   Naye omugabi ayagala okugabira abalala,Era anyiikirira ebikolwa eby’okugaba.   “Mmwe abakazi abateefiirayo, muyimuke muwulirize eddoboozi lyange! Mmwe abawala abatalina kibeeraliikiriza,+ musseeyo omwoyo ku ebyo bye ŋŋamba! 10  Mu mwaka gumu n’ennaku ntono, mmwe abatalina kibeeraliikiriza mulikankana,Kubanga tewalibaawo bibala bikunguddwa ng’okukungula kw’ezzabbibu kuwedde.+ 11  Mukankane mmwe abakazi abateefiirayo! Mukankane mmwe abatalina kibeeraliikiriza! Mweyambule,Era mwesibe ebibukutu mu biwato.+ 12  Mukube mu bifuba byammwe mukaabeOlw’ekyo ekyatuuka ku nnimiro ennungi ne ku muzabbibu ogubala ennyo. 13  Ettaka ly’abantu bange liribikkibwa amaggwa n’obuti obw’amaggwa;Biribikka amayumba gonna agaalimu okujaganya,Ekibuga ekyalimu okusanyuka.+ 14  Kubanga ekigo kyabuliddwa;Ekibuga ekibaddemu okuyoogaana tekisigaddeemu muntu.+ Oferi+ n’omunaala gw’omukuumi bifuuse matongo ag’enkalakkalira,Bifuuse ssanyu lya ndogoyi ez’omu nsiko,Bifuuse ddundiro lya bisolo,+ 15  Okutuusa lwe tulifukibwako omwoyo okuva waggulu,+Era eddungu ne lifuuka ennimiro y’emiti egy’ebibala,N’ennimiro y’emiti egy’ebibala n’eba ng’ekibira.+ 16  Olwo obwenkanya bulibeera mu ddungu,N’obutuukirivu bulibeera mu nnimiro y’emiti egy’ebibala.+ 17  Obutuukirivu obwa nnamaddala bulivaamu emirembe,+Era obutuukirivu obwa nnamaddala bulireeta obuteefu n’obutebenkevu eby’olubeerera.+ 18  Abantu bange balibeera mu kifo ekirimu emirembe eky’enkalakkalira,Balibeera mu bifo ebirimu obutebenkevu ne mu bifo eby’okuwummuliramu ebiteefu.+ 19  Naye omuzira gulikuba ekibira ne kigwa,N’ekibuga kirisuulirwa ddala wansi. 20  Mulina essanyu mmwe abasiga ensigo ku mabbali g’amazzi gonna,Mmwe abasumulula ente n’endogoyi.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “eky’okuddukiramu.”