Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Isaaya 26:1-21

EBIRIMU

  • Oluyimba olukwata ku bulokozi n’obwesige (1-21)

    • Ya Yakuwa, Olwazi olw’emirembe n’emirembe (4)

    • Abantu ababeera ku nsi baliyiga obutuukirivu (9)

    • “Abafu bo baliba balamu” (19)

    • Muyingire mu bisenge eby’omunda mwekweke (20)

26  Ku lunaku olwo oluyimba luno luliyimbibwa+ mu nsi ya Yuda:+ “Tulina ekibuga eky’amaanyi.+ Obulokozi abufuula bbugwe waakyo era bigo byakyo.+   Mugguleewo enzigi,+ eggwanga ettuukirivu liyingire,Eggwanga erikola eby’obwesigwa.   Olikuuma abo abakwesigira ddala;Olibawa emirembe egitaggwaawo,+Kubanga ggwe gwe beesiga.+   Mwesige Yakuwa emirembe gyonna,+Kubanga Ya* Yakuwa lwe Lwazi olw’emirembe n’emirembe.+   Kubanga assizza wansi abo ababeera waggulu, ekibuga ekigulumivu. Akissa wansi,Akissa wansi ku ttaka;Akisuula wansi mu nfuufu.   Ekigere kirikirinnyirira,Ebigere by’omunaku, ebigere by’omunkuseere.”   Ekkubo ly’omutuukirivu ggolokofu.* Olw’okuba oli mugolokofu,Olitereeza ekkubo ly’omutuukirivu.   Essuubi lyaffe liba mu ggwe,Nga tutambulira mu kkubo lyo ery’obwenkanya, Ai Yakuwa. Twagala nnyo erinnya lyo n’ekijjukizo kyo.*   Ekiro nzenna nkulumirwa omwoyo,Omwoyo gwange gukunoonya;+Kubanga bw’olamula ensi,Ababeera mu nsi bayiga ebikwata ku butuukirivu.+ 10  Omubi ne bw’alagibwa ekisa,Taliyiga butuukirivu.+ Ne mu nsi ey’obugolokofu alikola ebintu ebibi,+Era taliraba kitiibwa kya Yakuwa.+ 11  Ai Yakuwa, omukono gwo gugoloddwa naye tebagulaba.+ Baliraba okwagala okw’amaanyi kw’olaga abantu bo ne bakwatibwa ensonyi. Omuliro gwo gulisaanyaawo abalabe bo. 12  Ai Yakuwa, olituwa emirembe.+ Kubanga byonna bye tukolaGgwe otusobozesa okubikola. 13  Ai Yakuwa Katonda waffe, abaami abalala abatali ggwe batufuze,+Naye linnya lyo lyokka lye twogerako.+ 14  Baafa; tebaliba balamu. Tebakyalina maanyi, tebaliyimuka.+ Obataddeko ebirowoozo Okubazikiriza n’okubasaanyaawo baleme kuddamu kujjukirwa. 15  Ogaziyizza eggwanga, Ai Yakuwa,Ogaziyizza eggwanga;Weegulumizza.+ Ensalo zonna ez’ensi ozongezzaayo nnyo.+ 16  Ai Yakuwa, bwe baali mu buyinike badda gy’oli;Bwe wabakangavvula, baasaba essaala mu kaama.+ 17  Ng’omukazi anaatera okuzaalaBw’alumwa ebisa n’akaaba ng’ali mu bulumi,Bwe tutyo naffe bwe tubadde olw’okubeera ggwe, Ai Yakuwa. 18  Twaba olubuto era ne tulumwa ebisa,Naye tulinga abaazaala empewo. Tetuleese bulokozi mu nsi,Era tewali n’omu azaaliddwa okubeera mu nsi. 19  “Abafu bo baliba balamu. Emirambo gyange* giriyimuka.+ Muzuukuke mwogerere waggulu n’essanyuMmwe ababeera mu nfuufu!+Kubanga omusulo gwo gulinga omusulo ogw’oku makya,Era ettaka liriwandula* abafu abalirimu. 20  Mmwe abantu bange, muyingire mu bisenge byammwe eby’omunda,Era muggalewo enzigi.+ Mwekweke okumala akaseera katonoOkutuusa obusungu lwe bunaggwaawo.+ 21  Laba! Yakuwa ajja ng’ava gy’abeeraOkuvunaana ab’omu nsi olw’ebibi byabwe,Era ensi ejja kulaga omusaayi gwayo ogwayiibwaEra tejja kwongera kubikka ku baayo abattibwa.”

Obugambo Obuli Wansi

“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “ttereevu.”
Kwe kugamba, Katonda ajjukirwe era amanyibwe, n’erinnya lye nalyo lijjukirwe era limanyibwe.
Obut., “Omulambo gwange.”
Oba, “lirizaala.”