Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Londa olulimi Luganda

Isaaya 2:1-22

EBIRIMU

  • Olusozi lwa Yakuwa lugulumizibwa (1-5)

    • Ebitala birikolebwamu enkumbi (4)

  • Ab’amalala bafeebezebwa ku lunaku lwa Yakuwa (6-22)

2  Bino bye bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi, Isaaya mutabani wa Amozi bye yalaba:+   Mu nnaku ezisembayo,*Olusozi lw’ennyumba ya YakuwaLulinywezebwa waggulu w’ensozi,+Era luligulumizibwa waggulu w’obusozi,Era amawanga gonna galyekuluumululira okwo.+   Abantu okuva mu mawanga mangi baligenda ne bagamba nti: “Mujje twambuke ku lusozi lwa Yakuwa,Ku nnyumba ya Katonda wa Yakobo.+ Anaatuyigiriza amakubo ge,Era tunaatambulira mu mpenda ze.”+ Kubanga etteeka liriva* mu Sayuuni,N’ekigambo kya Yakuwa kiriva mu Yerusaalemi.+   Aliramula amawangaEra alitereeza ensonga ezikwata ku bantu b’omu mawanga mangi. Ebitala byabwe balibikolamu enkumbiN’amafumu gaabwe baligakolamu ebiwabyo.+ Eggwanga teririyimusa kitala eri ggwanga linnaalyo,Era tebaliyiga kulwana nate.+   Mmwe ennyumba ya Yakobo,Mujje tutambulire mu kitangaala kya Yakuwa.+   Olese abantu bo, ennyumba ya Yakobo,+Kubanga bakoppye ebintu bingi okuva Ebuvanjuba;Bakola eby’obufumu+ ng’Abafirisuuti,Era balina abaana bangi nnyo ab’abagwira.   Ensi yaabwe ejjudde ffeeza ne zzaabu,Era eby’obugagga byabwe tebiriiko kkomo. Ensi yaabwe ejjudde embalaasi,N’amagaali gaabwe tegaliiko kkomo.+   Ensi yaabwe ejjudde bakatonda abatalina mugaso.+ Bavunnamira omulimu gw’emikono gyabwe,Bavunnamira ebyo engalo zaabwe bye zaakola.   Bw’atyo omuntu yessa wansi, n’afeebezebwa,Era tosobola kubasonyiwa. 10  Yingira mu lwazi era weekweke mu nfuufuOlw’obusungu bwa Yakuwa obw’entiisaN’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi.+ 11  Abantu ab’amalala balikoteka emitwe gyabwe,N’abeegulumiza balissibwa wansi.* Yakuwa yekka y’aligulumizibwa ku lunaku olwo. 12  Olunaku olwo luliba lunaku lwa Yakuwa ow’eggye.+ Lulituuka ku buli ow’amalala era eyeegulumiza,Lulituuka ku buli omu, k’abe oyo agulumizibwa oba oyo owa wansi,+ 13  Lulituuka ku miti gy’entolokyo gyonna egy’e Lebanooni emiwanvu era emigulumivu,Lulituuka ku miyovu gyonna eminene egy’e Basani, 14  Lulituuka ku nsozi zonna engulumivuNe ku busozi bwonna obuwanvu, 15  Lulituuka ku bigo byonna ebiwanvu ne ku buli bbugwe ow’amaanyi, 16  Lulituuka ku byombo byonna eby’e Talusiisi+Ne ku maato gonna amalungi. 17  Omuntu ow’amalala alissibwa wansi,N’abeegulumiza balikutama.* Yakuwa yekka y’aligulumizibwa ku lunaku olwo. 18  Bakatonda abatalina mugaso baliggweerawo ddala.+ 19  Era abantu baliyingira mu mpuku ez’omu njazi,Ne mu binnya wansi mu ttaka+Olw’obusungu bwa Yakuwa obw’entiisaN’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi,+Bw’alisituka n’aleetera ensi okukankana olw’entiisa. 20  Ku lunaku olwo abantu balitwala bakatonda baabwe aba ffeeza ne zzaabu abatalina mugasoBe baakola babavunnamireNe babasuulira emisonso n’obuwundo,+ 21  Basobole okuyingira mu bituli ebiri mu njaziNe mu mpompogoma ez’omu njazi,Olw’obusungu bwa Yakuwa obw’entiisaN’olw’ekitiibwa kye eky’amaanyi,Bw’alisituka n’aleetera ensi okukankana olw’okutya. 22  Ku lw’obulungi bwammwe, mulekere awo okwesiga omuntu obuntu;Oyo mukka bukka oguli mu nnyindo ze.* Agasa ki?

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Mu nnaku ez’enkomerero.”
Oba, “obulagirizi buliva.”
Oba, “balitoowazibwa.”
Oba, “balitoowazibwa.”
Oba, “Oyo omukka gwe guli mu nnyindo ze.”