Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awali menu entono

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abajulirwa ba Yakuwa

Luganda

Bayibuli Eri ku Mukutu Gwaffe | ENKYUSA EY'ENSI EMPYA EY'EBYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU

Isaaya 12:1-6

EBIRIMU

  • Oluyimba olw’okwebaza (1-6)

    • “Ya Yakuwa ge maanyi gange” (2)

12  Ku lunaku olwo oligamba nti: “Nkwebaza Ai Yakuwa,Kubanga wadde nga wali onsunguwalidde,Obusungu bwo bwakkakkana mpolampola n’ombudaabuda.+   Laba! Katonda bwe bulokozi bwange.+ Nnaamwesiganga ne sitya;+Kubanga Ya* Yakuwa ge maanyi gange era bwe bukuumi bwange,Era afuuse obulokozi bwange.”+   Mulisena amazziMu nzizi ez’obulokozi nga mujaganya.+   Era ku lunaku olwo muligamba nti: “Mwebaze Yakuwa, mukoowoole erinnya lye,Mumanyise ebikolwa bye mu mawanga!+ Mulangirire nti erinnya lye ligulumiziddwa.+   Muyimbe ennyimba ezitendereza Yakuwa,+ kubanga akoze ebintu eby’ekitalo.+ Kino ka kimanyisibwe mu nsi yonna.   Yogerera waggulu era leekaana olw’essanyu ggwe abeera* mu Sayuuni,Kubanga Omutukuvu wa Isirayiri ali wakati mu ggwe mukulu.”

Obugambo Obuli Wansi

“Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Obut., “ggwe omukazi abeera.” Omukazi ono akiikirira abantu ababeera mu Sayuuni.